bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 3
Genesis 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 4 →
1
N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, Mukama Katonda ze yakola. Ne gugamba omukazi nti, “Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti, ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?’”
2
Omukazi n'agamba omusota nti, “Tuyinza okulya ku bibala eby'emiti egy'omu lusuku;
3
naye Katonda yagamba nti, ‘temulyanga ku bibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, newakubadde okugukwatangako muleme okufa.’”
4
Omusota ne gugamba omukazi nti, “Okufa temulifa.
5
Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi.”
6
Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne bba naye n'alya.
7
Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne bategeera nga baali bwereere; ne batunga amakoola g'emiti ne beekolera eby'okwambala.
8
Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'akawungeezi, omusajja ne mukazi we ne beekweka wakati mu miti egy'omu lusuku, Mukama Katonda aleme okubalaba.
9
Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba nti, “Oli ludda wa?”
10
N'addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.”
11
N'amubuuza nti, “Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako?”
12
Omusajja n'addamu nti, “Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange, ye ampadde ku kibala eky'oku muti, ne ndya.”
13
Mukama Katonda n'agamba omukazi nti, “Kiki kino ky'okoze?” Omukazi n'ayogera nti, “Omusota gunsenzesenze, ne ndya.”
14
Mukama Katonda n'agamba omusota nti, “Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo zonna ezifugibwa awaka, n'ez'omu nsiko. Oneekululiranga ku lubuto, era onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo;
15
nange n'ateeka obulabe wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi; alikubetenta omutwe gwo, naawe olibetenta ekisinziiro kye.”
16
N'agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo obulumi bwo mu kuzaala abaana; mu bulumi mwonoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri balo, naye anaakufuganga.”
17
N'agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti, ‘Togulyangako,’ ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga eby'okulya ennaku zonna ez'obulamu bwo;
18
amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro.
19
Mu ntuuyo ez'omu maaso go mwonooliiranga emmere, okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggyibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.”
20
Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu.
21
Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza.
22
Mukama Katonda n'ayogera nti, “Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe.”
23
Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Edeni, alimenga ettaka mwe yaggyibwa.
24
Bw'atyo n'agoba omuntu; n'ateeka bakerubi ebuvanjuba w'olusuku Edeni, era n'ekitala ekimyansa, ekikyukakyuka, okukuumanga ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50