bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 48
Genesis 48
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 49 →
1
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti, “Kitaawo mulwadde,” n'atwala batabani be bombi, Manase ne Efulayimu.
2
Ne bagamba Yakobo nti, “Omwana wo Yusufu azze okukulaba.” Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda.
3
Yakobo n'agamba Yusufu nti, “Katonda Omuyinza w'ebintu byonna yandabikira e Luzzi mu nsi ya Kanani, n'ampa omukisa,
4
n'aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno, okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe.’
5
Ne kaakano batabani bo bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnajja eno gy'oli mu Misiri, bange. Efulayimu ne Manase banaabanga bange, nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali.
6
Abaana b'olizaala okudda ku bano be baliba ababo, era obusika balibufunira ku baganda baabwe abo.
7
Nange, bwe nnali nva mu Padani, Laakeeri n'anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga wakyasigaddeyo ebbanga ddeneko okutuuka e Efulansi; ne mmuziika eyo ku kkubo erigenda e Efulasi, ye Besirekemu.”
8
Isiraeri n'alaba abaana ba Yusufu, n'amubuuza nti, “Bano be baani?”
9
Yusufu n'addamu kitaawe nti, “Be baana bange, Katonda be yampeera wano mu Misiri.” N'amugamba nti, “Nkwegayiridde Baleete mbasabire omukisa.”
10
Era amaaso ga Isiraeri gaali gayimbadde olw'obukadde, nga takyalaba bulungi. Yusufu n'abamusembereza; Isiraeri n'abawambaatira, n'abanywegera.
11
Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Nali sisuubira kuddayo kukulabako; naye kaakano Katonda andabisizza ne ku baana bo.”
12
Yusufu n'abaggya mu maviivi ga Isiraeri n'alyoka avuunama ku ttaka.
13
Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiraeri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali.
14
Naye Isiraeri n'agolola emikono gye n'agigombeza; ogwa ddyo n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu omuto, ogwa kkono n'agussa ku mutwe gwa Manase omukulu.
15
N'asabira Yusufu omukisa n'ayogera nti, “Katonda wa bajjajjange Ibulayimu ne Isaaka gwe baaweerezanga, Katonda andabiridde ennaku zange zonna okutuusa leero;
16
malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe abalenzi omukisa. Erinnya lyange, n'erya jjajjange Ibulayimu ne kitange Isaaka gatuumibwenga mu bo, era bafuuke ekibiina ekinene mu nsi.”
17
Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga; n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase.
18
Yusufu n'agamba kitaawe nti, “Nedda, kitange; Manase ye mubereberye; ssa omukono gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe.”
19
Kitaawe n'agaana n'ayogera nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi; Manase alifuuka ggwanga, era aliba mukulu; naye muto we ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye lirivaamu amawanga amangi.”
20
N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti, “Mu Isiraeri bwe banaabanga basabira omuntu omukisa, banaakozesanga amannya gammwe, nga bagamba nti, ‘Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase.’ ”
21
Isiraeri n'agamba Yusufu nti, “Laba nnaatera okufa, naye Katonda anaabanga wamu nammwe, era alibazzaayo mu nsi ya bajjajjammwe.
22
Isiraeri n'agamba Yusufu nti naye ggwe, nkwongeddeko omugabo gumu okusinga baganda bo, kye kitundu ky'e Sekemu kye nnawamba ku ba Amoli nga nkozesa ekitala n'omutego gwange.”
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 49 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50