bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 41
Genesis 41
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 42 →
1
Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Falaawo n'aloota ng'ayimiridde ku mugga Kiyira.
2
Era, laba, mu mugga ne muvaamu ente musanvu (7) ennungi eza ssava; ne zitandika okulya omuddo.
3
Era, laba, ente endala musanvu (7) embi era enkovvu ne ziziddirira, nga nazo ziva mu mugga; ne ziyimirira ku mabbali g'omugga awali ente ziri endala.
4
Ente embi era enkovvu ne zirya ente ziri omusanvu (7), ennungi eza ssava. Awo Falaawo n'azuukuka.
5
Ne yeebaka nate, n'aloota omulundi ogwokubiri; era, laba, ebirimba by'eŋŋaano musanvu (7) ne bimera ku kikolo kimu, ebigimu era nga birungi.
6
N'ebirimba by'eŋŋaano ebirala musanvu (7) ne bibiddirira; ne bimera nga bitono era nga bibabuddwa empewo eziva mu ddungu.
7
Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba biri omusanvu (7) ebigimu era ebinene. Falaawo n'azuukuka, n'ategeera nti abadde aloota.
8
Awo bwe bwakya enkya, Falaawo ne yeerariikirira, n'atumya abalaguzi n'abagezigezi, bonna ab'omu Misiri; n'ababuulira ebirooto bye.
9
Omusenero omukulu n'alyoka agamba Falaawo nti, “Leero nzijjukidde okwonoona kwange;
10
Falaawo bwe yasunguwalira abaddu be, n'abasibira mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, nze n'omufumbiro omukulu;
11
ffembi ne tuloota ebirooto mu kiro kimu, ng'ekirooto kya buli omu kirina amakulu ag'enjawulo.
12
Bwe twali mu kkomera, twali n'omulenzi Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira ebirooto byaffe, era n'atuvvuunulira amakulu gaabyo; yategeeza buli muntu ng'ekirooto kye bwe kyali.
13
Ne biba bwe bityo nga bweyabituvvuunulira; nze nnazzibwa ku bwami bwange, n'oli n'awanikibwa.”
14
Falaawo n'alyoka atumya Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera; bwe yamala okwemwa, n'okukyusa ebyambalo bye, n'agenda eri Falaawo.
15
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Nnaloota ekirooto, so tewali ayinza okuvvuunula amakulu gaakyo; era mpulidde nga bakwogerako nti oyinza okuvvuunula amakulu g'ekirooto bw'oba okiwulidde.”
16
Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera nti, “Si nze; naye Katonda y'anaawa Falaawo okuvvuunula okulungi.”
17
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Mu kirooto kyange, nnabadde nga nnyimiridde ku mabbali g'omugga Kiyira;
18
era, laba, mu mugga ne muvaamu ente musanvu (7) ennungi, eza ssava; ne zitandika okulya omuddo.
19
Era, laba, ente endala musanvu (7) ennafu, embi ennyo, enkovvu, ze ssirabangako mu nsi yonna ey'e Misiri ne ziziddirira.
20
Ente enkovvu era embi, ne zirya ente omusanvu eza ssava ezaasoose.
21
Awo bwe zaamala okuzirya omuntu nga tayinza kutegeera nti ziziridde kubanga zaasigala nkovvu nga bwe zaali olubereberye. Awo ne nzuukuka.
22
Era mu kirooto ekirala ne ndaba, ebirimba bye ŋŋaano musanvu (7) ebinene era ebirungi, nga bimeze ku kikolo kimu.
23
N'ebirimba by'eŋŋaano ebirala musanvu (7) ne bibiddirira; ne bimera nga bitono era nga bibabuddwa empewo eziva mu ddungu.
24
Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba ebirungi omusanvu (7) ne nkibuulira abalaguzi; naye tewali eyayinza okubivvuunula.”
25
Yusufu n'agamba Falaawo nti, “Ekirooto kyo kiri kimu; Katonda akutegeezezza by'agenda okukola.
26
Ente omusanvu (7) ennungi gye myaka omusanvu (7) n'ebirimba omusanvu (7) ebirungi gye myaka omusanvu (7) ebirooto byombi birina amakulu ge gamu.
27
N'ente omusanvu (7) enkovvu, embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu (7), era n'ebirimba omusanvu (7) ebitaliimu mpeke ebibabuddwa empewo eziva mu ddungu gye giriba emyaka omusanvu (7) egy'enjala.
28
Ebyo bye bigambo bye nkumbuulidde, ayi Falaawo; Katonda akulaze by'agenda okukola.
29
Laba, walibaawo emyaka musanvu (7) egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri.
30
Oluvannyuma lwagyo waliddawo emyaka musanvu (7) egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'enjala erizikiriza ensi.
31
Ekyengera kiryerabirirwa ddala mu nsi, olw'enjala erikiddirira, kubanga eriba nnyingi nnyo.
32
Ekirooto kya Falaawo kye kyava kiddibwamu emirundi ebiri, kubanga Katonda yali anyweza ekigambo kye, era ng'alikituukiriza mangu.
33
Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukalabakalaba era ow'amagezi, amuwe okufuga ensi ey'e Misiri.
34
Falaawo akole bw'atyo, era asseewo abalabirizi ku nsi, atereke ekitundu eky'ekkumi eky'ensi ey'e Misiri mu myaka omusanvu (7) egy'ekyengera.
35
Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, batereke eŋŋaano mu bibuga, mu mukono gwa Falaawo, bagikuume.
36
N'emmere eyo eriterekebwa olw'emyaka omusanvu (7) egy'enjala egiribaawo eriba eggwanika mu nsi ey'e Misiri; abantu baleme okufa enjala.”
37
Enteekateeka eyo yali nnungi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be bonna.
38
Falaawo n'agamba abaddu be nti, “Tuyinza okulaba omusajja afaanana ng'oyo, omusajja omuli omwoyo gwa Katonda?”
39
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Kubanga Katonda akulaze ebyo byonna, tewali mukalabakalaba era ow'amagezi nga ggwe.
40
Ggwe onoofuganga ensi yange, era n'abantu bange bonna banaakuwuliranga; kyokka nze nzekka, nze nnaakusinganga obukulu.”
41
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Laba, nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri.”
42
Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'aginaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe.
43
N'amutambuliza mu ggaali eryokubiri lye yalina; ne balangirira mu maaso ge nti, “Mufukamire.” Falaawo n'awa Yusufu okufuga ensi yonna ey'e Misiri.
44
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Nze Falaawo, era mu nsi ey'e Misiri tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere nga tokkirizza.”
45
Falaawo n'atuuma Yusufu erinnya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi, kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri.
46
Yusufu yali awezezza emyaka asatu (30) we yatandikira okuweereza Falaawo, kabaka w'e Misiri. Yusufu n'ava mu maaso ga Falaawo, n'atambula n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri n'agibunya.
47
Mu myaka omusanvu (7) egy'ekyengera ensi n'ebala emmere nnyingi nnyo.
48
Yusufu n'akuŋŋaanyanga emmere nnyingi nnyo mu myaka omusanvu (7) egy'ekyengera, n'agiterekanga mu bibuga. N'aterekanga mu buli kibuga emmere okuva mu nnimiro ezikyetoolodde.
49
Yusufu n'atereka eŋŋaano nnyingi nnyo ng'omusenyu ogw'ennyanja, era n'alekera awo okugipima kubanga yali tekyapimika.
50
Asenaasi, omwana wa Potiferi, kabona we Oni, n'azaalira Yusufu abaana ab'obulenzi babiri, omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka.
51
Yusufu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manase; eritegeeza nti, “Katonda anneerabizza ennaku yange yonna.”
52
N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu; eritegeeza nti, “Katonda anjalizza mu nsi ey'okubonaabona kwange.”
53
Emyaka omusanvu (7) egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako.
54
Emyaka omusanvu (7) egy'enjala ne gitandika, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri.
55
Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere; Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti, “Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mubikolenga bwe mutyo.”
56
Enjala n'ebuna ensi zonna; Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri eŋŋaano.
57
Abantu ne bavanga mu nsi zonna ne bajjanga mu Misiri eri Yusufu okugula eŋŋaano, olw'enjala eyali ennyingi mu nsi zonna.
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 42 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50