bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 14
Genesis 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 15 →
1
Awo mu mirembe gya Amulafeeri kabaka w'e Sinali, Aliyooki, kabaka w'e Erasali, Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, n'egya Tidali, kabaka w'e Goyiyimu,
2
bakabaka abo ne balwanagana ne Bbeera, kabaka w'e Sodoma, ne Bbiruusa, kabaka w'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera, oba Zowaali.
3
Bakabaka abo abataano begattira mu kiwonvu Sidimu, eyo ye nnyanja ey'omunnyo.
4
Baali bafugibwa Kedolawomeeri, okumala emyaka kkumi n'ebiri (12). Mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu (13) ne bajeema.
5
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14), Kedolawomeeri ne bakabaka abaali awamu naye, ne bajja, ne bawangulira Abaleefa mu Asuterosikalumayimu, n'Abazuuzi mu Kaamu, n'Abemi mu Savekiriyasayimu,
6
n'Abakooli ku lusozi lwabwe Seyiri, ne babagoba okutuusa mu Erupalaani ekiri okumpi n'eddungu.
7
Olwo ne bakyuka, ne balaga e Nuumisupaati, kati ye Kadesi, ne bawangula ensi yonna ey'Abamereki, n'ey'Abamoli, ababeera mu Kazazonutamali.
8
Awo bakabaka: ow'e Sodoma, n'ow'e Ggomola, n'ow'e Aduma, n'ow'e Zeboyiyimu, n'ow'e Bera, oba Zowaali; ne bategekera wamu olutalo, mu kiwonvu Sidimu,
9
okulwanyisa bakabaka: Kedolawomeeri ow'e Eramu, Tidali, ow'e Goyiyimu, Amulafeeri, ow'e Sinali, ne Aliyooki ow'e Erasali; bakabaka bano abana nga balwanyisa bali abataano.
10
Ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde obunnya obwe ttosi; kabaka ow'e Sodoma n'ow'e Ggomola, bwe badduka ne babugwamu, abalala abaasigalawo ne baddukira ku lusozi.
11
Bakabaka bali abana ne banyaga ebintu byonna mu Sodoma ne Gomora nga mulimu n'eby'okulya byonna, ne bagenda.
12
Ne banyaga Lutti, omwana wa muganda wa Ibulaamu, eyatuulanga mu Sodoma, n'ebintu bye, ne bagenda.
13
Omuntu omu eyawonawo n'ajja n'abuulira Ibulaamu, omwebbulaniya; oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli era muganda wa Aneri; abo bombi baali baalagaana ne Ibulaamu okulwaniranga awamu.
14
Ibulaamu bwe yawulira nga baanyaga omwana wa muganda we, n'agenda n'abasajja ab'omu maka ge, abaatendekebwa mu by'okulwana, bonna nga bawera bisatu mu kkumi na munaana (318), n'awondera bakabaka abana okutuuka e Daani.
15
N'agabanyaamu basajja be mu bibinja, n'alumba abalabe ekiro, n'abawangula, n'abawondera okutuuka e Kkoba, mu bukiikakkono obwa Ddamasiko.
16
N'akomyawo Lutti, mutabani we, omwana wa muganda we, n'ebintu bye, n'abakazi, n'abantu abalala.
17
Ibulaamu bwe yakomawo, ng'amaze okutta Kedolawomeeri, ne bakabaka abalala abaali naye, kabaka w'e Sodoma n'ajja okumusisinkana mu Kiwonvu ky'e Save, era ekiyitibwa Ekiwonvu kya Kabaka.
18
Ne Merukizeddeeki, kabaka w'e Ssaalemi, era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo; n'aleeta emmere n'omwenge,
19
n'asabira Ibulaamu omukisa, n'ayogera nti, “Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi, awe Ibulaamu omukisa.
20
Era Katonda oyo ali waggulu ennyo akusobozesezza okuwangula abalabe bo, atenderezebwe.” Ibulaamu n'awa Merukizeddeeki ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'omunyago gwonna.
21
Kabaka w'e Sodoma n'agamba Ibulaamu nti, “Sigaza ebintu, naye ompe abantu bange bonna.”
22
Ibulaamu n'agamba kabaka w'e Sodoma nti, “Ngolola omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi,
23
nga ndayira nti, Sijja kutwala kintu kyo nakimu, wadde akaguwa oba akakoba akasiba engatto, oleme kwogera nti, ‘Nze ngaggawazizza Ibulaamu.’
24
Nze sijja kutwala kintu kyo na kimu, wabula ebyo abavubuka abaagenda nange bye balidde; ne Aneri, Esukoli ne Mamule; nabo batwale omugabo gwabwe.”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50