bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 7
Genesis 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 8 →
1
Mukama n'agamba Nuuwa nti, “Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mulembe guno.
2
Ku buli nsolo nnongoofu, twalako musanvu musanvu, ensajja n'enkazi. Naye ku zitali nnongoofu, twalako bbiri, ensajja n'enkazi yaayo;
3
Era ne ku bibuuka waggulu, twalako musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi; ekika kyabyo kireme okuzikirira okuva ku nsi,
4
kubanga oluvannyuma lw'ennaku omusanvu nditonnyesa enkuba ku nsi okumala ennaku ana (40), emisana n'ekiro; era ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva ku nsi.”
5
Nuuwa n'akola byonna nga Katonda bwe yamulagira.
6
Nuuwa yalina emyaka lukaaga (600), amataba we gajjira ku nsi.
7
Nuuwa n'ayingira mu lyato ne mukazi we, n'abaana be, ne bakazi b'abaana be, okuwona amataba.
8
Ku buli kika kya nsolo ennongoofu n'ezitali nnongoofu, ne ku buli kika ky'ebibuuka mu bbanga, n'eky'ebyewalula ku ttaka,
9
ne biyingira ne Nuuwa mu lyato, bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, nga Katonda bwe yalagira Nuuwa.
10
Bwe waayitawo ennaku musanvu, amataba ne gajja ku nsi.
11
Mu mwaka ogwolukaaga (600) ogw'obulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu (17), ensulo zonna ez'omu nnyanja ennene ne zizibukuka.
12
Enkuba n'etonnya ku nsi okumala ennaku ana (40), emisana n'ekiro.
13
Ku lunaku olwo Nuuwa ne mukazi we, n'abaana baabwe: Seemu, Kaamu ne Yafeesi ne bakazi baabwe, ne bayingira mu lyato.
14
Buli kika kya nsolo entono n'ennene, enfuge n'ez'omu nsiko, na buli kika ky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira nabo mu lyato.
15
Ne biyingira ne Nuuwa mu lyato, bibiri bibiri ku buli ekirina omukka ogw'obulamu.
16
Ebiramu ebyayingira ne Nuuwa byali ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yamulagira; Mukama n'amuggalira munda.
17
Amataba ne gabeera ku nsi ennaku ana (40); amazzi ne geeyongera obungi ne gasitula eryato okuva ku ttaka.
18
Amazzi ne geeyongera nnyo ku nsi, ne gabuna wonna, eryato ne liseeyeeya ku ngulu ku mazzi.
19
Amazzi ne gatumbiira nnyo ku nsi; ne gabuutikira ensozi zonna ezaali zisingira ddala obugulumivu.
20
Amazzi ne gatumbiira emikono kkumi n'etaano (15) okusukka ku ntikko z'ensozi.
21
Ebiramu byonna ku nsi, omuli ensolo enfuge n'ez'omu nsiko n'ebibuuka mu bbanga, n'abantu bonna, ne bifa.
22
Buli kintu ku nsi ekyalimu omukka ogw'obulamu ne kifa.
23
Mukama n'asangula buli kiramu kyonna ku nsi: abantu, n'ensolo n'ebyewalula ku ttaka, n'ebibuuka mu bbanga. Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato.
24
Amazzi ne gasigala nga gatumbidde ku nsi okumala ennaku kikumi mu ataano (150).
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50