bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 33
Genesis 33
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 34 →
1
Awo Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Esawu ng'ajja n'abasajja bina (400). Yakobo n'agabanyaamu abaana, wakati wa Leeya ne Laakeeri, n'abazaana bombi.
2
N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'akomerezaayo Laakeeri ne Yusufu.
3
Naye ye yennyini n'abakulemberamu, n'avuunama ku ttaka emirundi musanvu nga bw'asemberera muganda we
4
Esawu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, ne bakaaba amaziga.
5
Esawu bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba abakazi n'abaana, n'abuuza nti, “Baani bano abali naawe?” Yakobo n'addamu nti, “Abo be baana, Katonda olw'ekisa kye be yawa omudduwo.”
6
Awo abazaana n'abaana baabwe ne basembera ne bavuunama.
7
Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunama; Yusufu ne Laakeeri nabo ne basembera, ne bavuunama.
8
Esawu n'amubuuza nti, “Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo ki?” N'amuddamu nti, “Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange.”
9
Esawu n'amugamba nti, “Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo.”
10
Yakobo n'ayogera nti, “Nedda, nkwegayiridde! Kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange; kubanga ndabye amaaso go, ne mba ng'omuntu bwe yandirabye amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.
11
Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala.” N'amwegayirira, Esawu n'akitwala.
12
Awo Esawu n'agamba nti, “Tukwate ekkubo tugende, nze nja kukulemberamu.”
13
Yakobo n'addamu nti, “Mukama wange omanyi ng'abaana bakyali bato, tebannafuna maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange, ziyonsa. Bwe banaazigoba ennyo, wadde olunaku olumu, amagana gonna gajja kufa.
14
Nkwegayiridde, mukama wange ggwe kulembera nange omuddu wo najja mpolampola nga bwe nnaasobola okutambula, n'ensolo ze nkulembezzaamu era n'abaana, nkutuukeko mu Seyiri.”
15
Esawu n'agamba nti, “Kale ka nkulekere ku bantu abali nange.” Kyokka Yakobo n'agamba nti, “Ekyo tekyetaagisa, bwe mba nga ndabye ekisa mu maaso go Mukama wange.”
16
Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo e Seyiri
17
Naye Yakobo n'atambula n'agenda e Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo ekyo kye lyava liyitibwa Sukkosi.
18
Yakobo bwe yava e Padanalaamu, n'atuuka mirembe mu kibuga kye Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, n'asiisira okumpi n'ekibuga.
19
N'agula ettaka ku baana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, ebitundu bya feeza kikumi (100), n'asimba eweema ye.
20
N'azimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50