bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 18
Genesis 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 19 →
1
Mukama n'amulabikira Ibulayimu mu ttuntu, bwe yali ng'atudde mu mulyango gw'eweema ye, awali emivule gy'e Mamule;
2
n'ayimusa amaaso ge n'alengera abasajja basatu nga bayimiridde; n'adduka mbiro okubasisinkana, ne yeeyala ku ttaka,
3
n'ayogera nti, “Bakama bange, bwe mulaba nga nsaanidde, mbeegayiridde mukyameko mu maka gange, temumpitako.
4
Ka baleete amazzi, munaabe ebigere, muwummulireko mu kisiikirize ky'omuti,
5
nange nga bwe ndeeta akamere, mulyeko, muddemu amaanyi; kubanga mutuuse mu nnyumba y'omuddu wammwe.” Ne boogera nti, “Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde.”
6
Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti, “Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta obugoye, ofumbe emmere.”
7
Ibulayimu n'adduka mbiro n'agenda mu kiraalo, n'alondamu ennyana eŋŋonvu ennungi, n'agiwa omuddu we agitte agifumbe mangu.
8
Ibulayimu n'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya.
9
Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa Saala mukazi wo?” N'addamu nti, “Ali mu weema.”
10
Omu kubo n'amugamba nti, “Omwaka ogujja mukiseera nga kino, ŋŋenda kukomawo, era Saala mukazi wo aliba azadde omwana ow'obulenzi.” Saala yali munda mu weema, n'awulira.
11
Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eba.
12
Saala n'aseka munda ye, ng'ayogera nti, “Nze akaddiye bwenti, era ne baze naye ng'akaddiye, nkyasobola okufuna essanyu eryo ery'obufumbo?”
13
Mukama n'agamba Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng'agamba nti, ‘Mazima ndizaala omwana nga nkaddiye?’
14
Waliwo ekirema Mukama? Nga bwe n'agambye, ndikomawo mu kiseera nga kino, omwaka ogujja era Saala aliba azadde omwana ow'obulenzi.”
15
Saala n'alyoka yeegaana, ng'ayogera nti, “Sisese;” kubanga yatya. N'ayogera nti, “Nedda; naye okuseka osese.”
16
Abasajja ne basituka ne bavaawo, ne bagenda mu kifo we bayinza okulengerera Sodoma. Ibulayimu nabawerekerako.
17
Mukama n'ayogera nti, “Sijja kukisa Ibulayimu kye ŋŋenda kukola;
18
kubanga Ibulayimu agenda kuvaamu eggwanga eddene, ery'amaanyi, era mu ye, amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa.
19
Kubanga kyennava mmulonda, alyoke ayigirize abaana be n'abazzukulu, okukwatanga n'okugonderanga ebiragiro byange, nga bakola ebituufu n'eby'amazima, ndyoke ntuukirize bye namusuubiza.”
20
Mukama n'ayogera nti, “Kubanga okwemulugunya olw'obubi obungi obuli mu Sodoma ne Ggomola kunene nnyo;
21
kaakano nnakka ndabe nga bakolera ddala ng'okw'emulugunya okwo okwantuukako bwe kuli, era oba si bwe kityo, naamanya.”
22
Abasajja ababiri kubo ne bavaayo, ne bagenda e Sodoma; naye Ibulayimu n'asigala ng'ayimiridde mu maaso ga Mukama.
23
Ibulayimu n'asembera, n'abuuza nti, “Olizikiriza abatuukirivu awamu n'ababi?
24
Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano (50); era onookizikiriza n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu abo ataano (50) abakirimu?
25
Toyinza kukola ekyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi. Ddala toyinza kubonereza batuukirivu awamu n'ababi. Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu?”
26
Mukama n'ayogera nti, “Bwe nnaalaba mu kibuga Sodoma abatuukirivu ataano (50), nja kusonyiwa ekifo kyonna ku lwabwe.”
27
Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti, “Nsonyiwa, nze enfuufu obufuufu n'evvu, okwetantala okwogera naawe Mukama afuga byonna.
28
Singa ku batuukirivu ataano (50) kunaabulako abataano; era onoozikiriza ekibuga kyonna olw'abataano abo ababulako?” N'addamu nti, “sijja kukizikiriza bwe nnaalabamu ana mu abataano (45).”
29
Ibulayimu n'ayogera naye nate nti, “Singa munaabamu ana (40)?” Mukama n'addamu nti, “Siikole bwe ntyo ku lw'abo ana (40).”
30
Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti, “Nkwegayiridde, Mukama tonsunguwalira, kanjogere nate, singa munaalabikamu asatu (30)?” Mukama n'addamu nti, “Siikole bwe ntyo bwe nnaalabamu asatu (30).”
31
Ibulayimu n'agamba nti, “ Nsonyiwa okwetantala okwogera naawe nate, Afuga byonna. Singa munaasangibwamu abiri (20).” Mukama n'addamu nti, “Sijja kukizikiriza olw'abo abiri (20).”
32
Ibulayimu n'agamba nti, “Tonsunguwalira, kanjogere nate omulundi guno gwokka. Singa munaalabikamu ekkumi (10).” N'addamu nti, “ Sijja kukizikiriza olw'abo ekkumi (10).”
33
Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu n'agenda, ne Ibulayimu n'addayo ewuwe.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50