bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 20
Genesis 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 21 →
1
Ibulayimu n'ava e Mamule n'agenda mu nsi ey'obukiikaddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli. Awo bwe yali ng'ali mu Gerali;
2
Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti, “Ye mwannyinaze.” Awo Abimereki kabaka w'e Gerali kwe kutuma bamuleetere Saala.
3
Naye Katonda n'ajjira Abimereki ekiro mu kirooto n'amugamba nti, “Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba.”
4
Naye Abimereki yali tanegatta ne Saala; n'ayogera nti, “Mukama, onotta eggwanga eritalina musango?
5
Ibulayimu teyaŋŋamba ye yennyini nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Era n'omukazi yennyini n'ayogera nti, ‘Ye mwannyinaze?’ Kye nnakola, nnakikola mu mutima mulungi.”
6
Katonda n'amugamba mu kirooto nti, “Weewaawo, mmanyi nga wakikola mu mutima mulungi, era nange kye nnava nkuziyiza okwonoona, ne sikuganya kumukwatako.
7
Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga omusajja oyo nnabbi, ajja ku kusabira oleme kufa; naye bw'otomuzzeeyo, tegeera nga ojja kufa ggwe n'abantu bo bonna.”
8
Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abategeeza ebyo byonna, ne batya nnyo.
9
Abimereki n'alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti, “Nakukola ki? Kibi ki kye nnakukola ggwe, olyoke ondeetere nze n'obwakabaka bwange okwonoona kuno okunene?”
10
Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “Wagenderera ki okukola bw'otyo?”
11
Ibulayimu n'addamu nti, “Nnalowooza nti mu kifo kino temuli kutya Katonda; era nti bagenda kunzita olw'omukazi wange.
12
Naye kyo kituufu, Saala mwannyinaze, kubanga mwana wa kitange so si wa mmange, kyennava muwasa.
13
Kale, Katonda bwe yanzigya mu nnyumba ya kitange n'antambuzatambuza mu nsi endala, ne ŋŋamba Saala nti ‘Kino kye ky'ekisa ky'onoonkoleranga. Mu buli kifo mwe tunaatuukanga; ogambanga nti ono mwannyinaze.’ ”
14
Awo Abimereki n'awa Ibulayimu endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'amuddiza ne Saala mukazi we.
15
Abimereki n'agamba Ibulayimu nti, “ Ensi yange yiiyo; tuula wonna w'oyagala.”
16
N'agamba Saala nti, “Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi (1,000) ebya ffeeza; nga ke kabonero akakasa bonna b'oli nabo nti tolina musango”
17
Ibulayimu n'asaba Katonda; Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'abazaana be; ne bazaala abaana;
18
kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50