bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 45
Genesis 45
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 44
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 46 →
1
Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti, “Mufulumye abantu bonna bave we ndi.” Ne watasigala muntu n'omu bwe yali nga yeeyoleka eri baganda be.
2
N'akaaba n'eddoboozi ddene, Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira.
3
Yusufu n'agamba baganda be nti, “Nze Yusufu; kitange akyali mulamu?” Baganda be ne batya nnyo, okulaba nga bayimiridde mu maaso ge, ne batayinza kumuddamu.
4
Yusufu n'agamba baganda be nti, “Munsemberere, mbeegayiridde.” Ne basembera. N'ayogera nti, “Nze Yusufu, muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri.
5
Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno; kubanga Katonda ye yankulembeza okubawonya mmwe mu kufa.
6
Enjala yaakamala mu nsi emyaka ebiri; ate ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula.
7
Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonya ne bazzukulu bammwe, muleme okufa mu ngeri ey'ekitalo.
8
Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda; era ye yanfuula nga kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri.
9
Kale mwanguwe, muddeyo eri kitange, mumugambe nti, Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti, Katonda yanfuula omufuzi wa Misiri yonna; Jjangu gye ndi awatali kulwa.
10
Onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abazzukulu bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina.
11
Nnaakulabiriranga ng'oli eyo; ggwe n'ab'omu maka go, ne byonna by'olina, oleme kwavuwala, kubanga wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano (5) egy'enjala.
12
Kaakano mmwe mwennyini mulaba, era ne muganda wange Benyamini alaba, nga nze Yusufu yennyini ayogera nammwe.
13
Mubuulire kitange ekitiibwa kyange kyonna kye nnina mu Misiri, era mumutegeeze ne byonna bye mulabye; mwanguwe mumuleete wano.”
14
Awo Yusufu n'agwa muganda we Benyamini mu kifuba n'akaaba amaziga; Benyamini naye n'akaabira mu kifuba kye.
15
Yusufu n'anywegera baganda be bonna, nga bw'akaaba amaziga; n'oluvannyuma baganda be ne banyumya naye.
16
Ebigambo bwe byatuuka mu lubiri lwa Falaawo nti, “baganda ba Yusufu bazze,” Falaawo n'abakungu be ne basanyuka nnyo.
17
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mutikke ebintu ku nsolo zammwe, muddeyo mu nsi ya Kanani;
18
muleete kitammwe n'ab'omu nnyumba zammwe, mujje ewange, nange ndibawa ettaka erisinga obugimu mu Misiri, era munaalyanga ebirungi eby'omu nsi eno.’
19
Era balagire nti, ‘Mukole bwe muti: nga muva mu nsi ey'e Misiri, mugende n'amagaali kwe mulireetera abaana bammwe abato ne bakazi bammwe, mujje ne kitammwe.
20
Era temweraliikirira kulekayo bintu byammwe, kubanga ebisinga obulungi mu nsi ey'e Misiri yonna biriba byammwe.’ ”
21
Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo; Yusufu n'abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira, n'abawa n'entanda ey'omu kkubo.
22
Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza bisatu (300), n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano.
23
Ne kitaawe n'amuweereza bw'ati: endogoyi kkumi (10) ezeetisse ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi (10) ezeetisse eŋŋaano n'emmere, n'eby'okulya kitaawe by'aliriira mu kkubo.
24
Bw'atyo n'asiibula baganda be ne bagenda; n'abagamba nti, “Mwekuume muleme okuyombera mu kkubo.”
25
Ne bava e Misiri, ne baddayo e Kanani eri Yakobo kitaabwe.
26
Ne bamugamba nti, “Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri,” n'azirika kubanga teyabakkiriza.
27
Ne bamubuulira ebigambo byonna Yusufu bye yabagamba; bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwaliramu, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amaanyi.
28
Isiraeri n'ayogera nti, “Kinaamala; Yusufu omwana wange akyali mulamu; nja kugenda okumulaba nga sinnafa.”
← Chapter 44
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 46 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50