bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 28
Genesis 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 29 →
1
Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti, “Towasanga omukazi omukanani.
2
Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize eyo omukazi aliva mu bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko.
3
Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwazenga, ofuuke kitaawe w'amawanga amangi;
4
era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo; osikire ensi eno gy'olimu, Katonda gye yawa Ibulayimu.”
5
Isaaka n'asindika Yakobo; n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu.
6
Era Esawu n'ategeera nti Isaaka yasabira Yakobo omukisa, era n'amusindika okugenda e Padanalaamu okwewasizaayo omukazi; era n'ategeera nti bwe yamusabira omukisa yamukuutira obutawasanga mukazi Mukanani.
7
Era Esawu n'ategeera nga Yakobo yawulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu.
8
Esawu bwe yategeera nga kitaawe tayagala bakazi Bakanani;
9
n'agenda ewa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu, n'awasa muwala we Makalasi, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we.
10
Yakobo n'ava mu Beeruseba n'ayolekera e Kalani.
11
N'atuuka mu kifo ekimu, n'asulawo, kubanga enjuba yali egudde; n'addira erimu ku mayinja ag'omu kifo ekyo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira okwebaka.
12
N'aloota ng'alaba amadaala agasimbiddwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuka mu ggulu, era laba, bamalayika ba Katonda nga balinnya, era nga bakka ku go.
13
Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti, “Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo;
14
n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukkiikkakkono, n'obukiikaddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.
15
Era, laba, nze ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko.”
16
Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti, “Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi!”
17
N'atya, n'ayogera nti, “Ekifo kino nga kya ntiisa! Kino, mazima, ye nnyumba ya Katonda ddala, era gwe mulyango gw'eggulu.”
18
Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo.
19
N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri; naye erinnya ly'ekibuga ekyo olubereberye lyali Luuzi.
20
Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti, “Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye ŋŋendamu, era bw'anaampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala,
21
n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange,
22
n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda; era ku byonna by'on'ompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50