bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 32
Genesis 32
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 33 →
1
Yakobo ne yeeyongera mu lugendo lwe, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana.
2
Yakobo bwe yabalaba n'ayogera nti, “Lino lye ggye lya Katonda!” N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Makanayimu.
3
Awo Yakobo n'atuma ababaka okumukulemberamu okugenda eri Esawu muganda we, eyali e Seyiri mu nsi ya Edomu.
4
N'abalagira nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti Yakobo omuweereza wo agamba nti, ‘N'abeeranga ne Labbaani, era mbadde naye okutuusa kaakano.
5
Era nnina ente n'endogoyi n'ebisibo by'endiga n'embuzi, abaddu n'abazaana. Nkutumidde okukutegeeza mukama wange, onkwatirwe ekisa.’ ”
6
Ababaka ne bakomawo eri Yakobo, ne bagamba nti, “Twatuuka eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana, ng'ali n'abasajja bina (400).”
7
Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira. N'ayawulamu ebibinja bibiri mu bantu abaali naye, ne mu bisibo by'embuzi, n'endiga, n'ente, n'eŋŋamira.
8
N'ayogera nti, “Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona.”
9
Yakobo n'ayogera nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ayi Mukama, eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange nnaakukolanga bulungi,’
10
sisaanira, n'akatono ekisa kyonna n'obwesigwa bwonna bye wandaga nze omuweereza wo. Nasomoka omugga guno Yoludaani, nga nnina muggo gwokka. Naye kaakano nkomyewo, nga nnina ebibiina bibiri.
11
Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange Esawu, kubanga mmutya, aleme okunzita n'abaana bange ne bannyaabwe.
12
Naawe wayogera nti, ‘Siiremenga ku kukola bulungi, era nnaafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi.’ ”
13
N'asula awo ekiro ekyo, n'atoola ku ebyo bye yali nabyo okuba ekirabo kya Esawu muganda we;
14
embuzi enkazi bibiri (200), n'ennume abiri (20), endiga enkazi bibiri (200), n'ennume abiri (20),
15
eŋŋamira ezikamibwa asatu (30) n'abaana baazo, ente enkazi ana (40), n'eza sseddume kkumi (10), endogoyi enkazi abiri (20) n'abaana baazo kkumi (10).
16
N'abikwasa abaddu be, buli kisibo nga kiri kyokka; n'abagamba nti, “Munkulembere musomoke, naye mulekeewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo.”
17
N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti, “Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti, ‘Oli w'ani? Ogenda wa? Ebyo by'oli nabyo by'ani?’
18
Oddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo; Kye kirabo ky'aweerezza mukama wange Esawu. Era Yakobo yennyini atuvaako mabega.’ ”
19
Era n'alagira n'ow'okubiri, n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti, “Esawu bwe munaamusisinkana,
20
Munaamugamba nti, ‘omudduwo Yakobo atuvaako mabega.’ ” Yakobo yagamba nti, “Nja kumuwooyawooya n'ekirabo ekinankulemberamu, olwo bwe nnaamusisinkana, aboolyawo anannyaniriza.”
21
Awo ekirabo ne kimukulemberamu, kyokka ye n'asula awo mu lusiisira ekiro ekyo.
22
Yakobo n'agolokoka ekiro ekyo, n'atwala bakazi be bombi, n'abazaana be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu (11), n'asomoka Omugga Yabboki.
23
N'abatwala, n'abasomosa akagga, n'asomosa ne byonna bye yalina.
24
Kyokka ye n'asigalayo yekka. Awo omusajja n'ajja, n'ameggana naye, okutuusa emmambya lwe yasala.
25
Awo omusajja bwe yalaba nga tajja kumegga Yakobo, n'amukoma ku bbunwe; bbunwe wa Yakobo n'anuuka ng'ameggana naye.
26
N'agamba Yakobo nti, “Nta ŋŋende, kubanga emmambya esala.” Yakobo n'ayogera nti, “Sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa.”
27
Omusajja n'amubuuza nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” N'amuddamu nti, “Nze Yakobo.”
28
N'ayogera nti, “Erinnya lyo terikyali Yakobo, wabula onooyitibwanga Isiraeri, kubanga owakanye ne Katonda, n'abantu, era owangudde.”
29
Yakobo n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo.” Omusajja n'addamu nti, “Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange?” N'amuweera mu kifo ekyo omukisa.
30
Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya Penueri, ng'agamba nti, “Ndabaganye ne Katonda maaso n'amaaso ne nsigala nga ndi mulamu.”
31
Enjuba n'emwakako ng'ava e Penueri, ng'awenyera olwa bbunwe we.
32
N'okutuusa kaakati Abaisiraeri kye bava tebalya ekinywa ekiri ku bbunwe, kubanga ku kinywa ekyo, omusajja kwe yakoma.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50