bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 31
Genesis 31
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 32 →
1
Yakobo n'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti, “Yakobo atutte ebintu byonna ebyali ebya kitaffe; era mu byo mw'afunidde obugagga obwo bwonna.”
2
Yakobo n'alaba nga Labbaani takyamusanyukira ng'olubereberye.
3
Mukama n'agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, era eri baganda bo; nange nnaabeeranga wamu naawe.”
4
Yakobo n'atumya Laakeeri ne Leeya bajje mu ddundiro awali ekisibo kye,
5
n'abagamba nti, “Ndabye nga kitammwe takyansanyukira ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange abadde wamu nange.
6
Era mumanyi nga nnaweerezanga kitammwe n'amaanyi gange gonna.
7
Era kitammwe yannimba, n'akyusanga empeera yange emirundi kkumi (10); naye Katonda teyamuganya kunkola bubi.
8
Bwe yayogeranga bw'ati nti, ‘Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo,’ ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi; era bwe yayogeranga bw'ati nti, ‘Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo,’ ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuga.
9
Bw'atyo Katonda ensolo za kitammwe yazimuggyako, n'azimpa.
10
Awo olwatuuka mu biro ebisibo mwe biwakira nnaloota ne ndaba ng'ebuzi ennume ezaalinnyira ebisibo zaali za biwuga, bujagijagi ne kiweewoweewo.
11
Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mu kirooto nti, ‘Yakobo,’ ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’
12
N'ayogera nti, ‘Yimusa kaakano amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, bujagijagi, ne kiweewoweewo; kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukola.
13
Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo; kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.’ ”
14
Laakeeri ne Leeya ne baddamu ne bamugamba nti, “Tukyalina omugabo oba busika mu nnyumba ya kitaffe?
15
Tetubalibwa nga bannamawanga gy'ali? kubanga yatutunda, era n'ebintu byaffe abiriiridde ddala.
16
Kubanga obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe, bwe bwaffe era bwa baana baffe: kale kaakano, kyonna Katonda ky'akugambye, kikole.”
17
Yakobo n'alyoka agolokoka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira;
18
n'atwala ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yafunira e Padanalaamu, addeyo eri kitaawe Isaaka, mu nsi ya Kanani.
19
Labbaani yali agenze okusala ebyoya by'endiga ze; Laakeeri n'abba baterafi ba kitaawe.
20
Yakobo n'agenda mu kyama Labbaani Omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuulira ng'adduka.
21
Bw'atyo n'adduka n'ebibye byonna bye yalina, n'asomoka omugga Fulaati, n'ayolekera Gireyaadi, ensi ey'ensozi.
22
Ku lunaku olwokusatu ne babuulira Labbaani nti Yakobo yadduka.
23
Labbani n'atwala baganda be, n'amuwondera olugendo lwa nnaku musanvu; n'amutuukako mu Gireyaadi, ensi ey'ensozi.
24
Katonda n'alabikira Labbaani Omusuuli mu kirooto ekiro, n'amugamba nti Weegendereze tobaako kintu kyonna ky'oyogera ne Yakobo, oba kirungi oba kibi.
25
Labbaani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye mu nsi ey'ensozi; ne Labbaani ne baganda be nabo ne basimba eweema yabwe mu Gireyaadi ensi ey'ensozi.
26
Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala?
27
Kiki ekyakuddusa ekyama n'onkisa ng'ogenda; n'otombuulira, ndyoke nkusiibule n'ekinyumu n'ennyimba, n'ebitaasa n'ennanga;
28
n'otoŋŋanya kunywegera batabani bange ne bawala bange? Ky'okoze kya busirusiru.
29
Nnina obuyinza okukukolako obubi, naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro nti, ‘Weegendereze tobaako kintu kyonna ky'oba oyogera ne Yakobo, oba kirungi oba kibi.’
30
Mmanyi ng'oyagala okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo. Naye lwaki wabba bakatonda bange?”
31
Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti, “Kubanga nnatya nti oyinza okunzigyako bawalabo olw'empaka.
32
Buli gw'onoosanga ne bakatonda bo attibwe. Kaakano nga tuliwano mu maaso ga baganda baffe, yawulamu ebibyo ebiri mu byange obitwale.” Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri yabba bakatonda ba kitaawe.
33
Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri.
34
Laakeeri yali atutte baterafi, ng'abakweese mu matandiiko g'eŋŋamira ng'abatuddeko. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba.
35
Laakeeri n'agamba kitaawe nti, “Mukama wange tosunguwala kubanga siyinza kuyimirira w'oli nga ndi mu mpisa y'abakazi.” Labbaani n'anoonya, naye n'atalaba baterafi.
36
Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani ng'agamba nti, “Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikunnondooza bw'otyo?
37
Oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabyemu ekikyo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango ffembi.
38
Emyaka egyo abiri (20) gye n'abeeranga naawe; endiga zo n'embuzi zo enkazi tezaasowola, n'ennume ez'omu kisibo kyo saazirya.
39
Eyataagulwanga ensolo saagikuleeteranga; nze nnafiirwanga; eyabbibwanga emisana oba ekiro waginvunaananga.
40
Bwe ntyo bwe nnaabeeranga. Emisana, omusana gwanzigwerangako, ate ekiro empewo n'enfuuwa; era n'otulo twambulanga.
41
Emyaka egyo abiri (20) gye nnali mu nnyumba yo; nnakuweerereza emyaka kkumi n'ena (14) olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga (6) olw'ebisibo byo; naye ggwe wakyusakyusa empeera yange emirundi kkumi (10).
42
Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, kye yavudde akunenya ekiro.”
43
Labbaani n'addamu Yakobo nti, “Abawala bano, bawala bange, n'abaana baabwe be baana bange, n'ebisibo bino bisibo byange, ne byonna by'olaba wano byange; kaakati nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba abaana be baazaala.
44
Kale nno kaakano, tukole endagaano, nze naawe; ebeerenga omujulirwa wakati wo nange.”
45
Awo Yakobo n'addira ejjinja, n'alisimba libe ekijjukizo
46
Yakobo n'agamba abantu be nti, “Mukuŋŋaanye amayinja,” ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu; ne baliira awo awali entuumu.
47
Labbaani n'agituuma erinnya Yegalusakadusa; naye Yakobo n'agituuma Galeedi.
48
Labbaani n'ayogera nti, “Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero.” Erinnya lyayo kye lyava libeera Galeedi;
49
era Mizupa, kubanga yayogera nti, “Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba nga tetukyalabagana.
50
Bw'onoobonyaabonyanga bawala bange, oba bw'oliwasa abakazi abalala awali bawala bange, wadde tewaliba muntu mulala ali naffe, jjukira nga Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
51
Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Laba entuumu eno ey'amayinja n'empagi eno gye nsimbye wakati wo nange.
52
Entuumu eno n'empagi eno binaabanga abajulirwa baffe nga nze siriyita ku ntuumu eno ku kulumba, era naawe nga toliyita ku ntuumu eno ne ku mpagi eno kunnumba.
53
Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamulenga wakati waffe.” Yakobo n'alayira Katonda wa kitaawe Isaaka, ng'anaakuumanga endagaano eyo.
54
Yakobo n'aweerayo ssaddaaka ku lusozi, n'ayita abantu be okulya emmere; ne balya emmere, ne babeera ku lusozi okukeesa obudde.
55
Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera bazzukulu be ne bawala be, n'abasabira omukisa; Labbaani n'asituka n'addayo ewuwe.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50