bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 37
Genesis 37
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 38 →
1
Yakobo n'abeeranga mu nsi ya Kanani kitaawe mwe yatuulanga.
2
Bino bye byafaayo bya maka ga Yakobo: Yusufu bwe yali nga awezezza emyaka kkumi na musanvu (17), yali ng'alunda ekisibo awamu ne baganda be, n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe. Yusufu n'aloopanga eri kitaawe ebibi bye baakolanga.
3
Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye; n'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.
4
Baganda ba Yusufu ne balaba nga kitaabwe amwagala nnyo okubasinga bonna; ne bamukyawa, ne batayogera naye bya mirembe wabula eby'okuyomba.
5
Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be; ne beeyongera nate okumukyawa.
6
N'abagamba nti, “Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye nnaloose;
7
Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.”
8
Baganda be ne bamugamba nti, “Olowooza olitufuga ggwe, oba olitutwala ggwe?” Ne beeyongera nate okumukyawa olw'ebirooto bye n'olw'ebigambo bye.
9
N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti, “Laba, nnaloose ekirooto ekirala; ng'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye ekkumi n'emu (11) nga binvuunamira.”
10
N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti, “Kirooto ki kino kye waloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulijja okukuvuunamira?”
11
Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'akuumanga ebigambo ebyo bye yayogera.
12
Awo baganda ba Yusufu bwe baali bagenze e Sekemu okulunda ekisibo kya kitaabwe;
13
Isiraeri n'abuuza Yusufu nti, “Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? Jjangu nkutume gyebali.” N'amuddamu nti, “Nzuuno.”
14
N'amugamba nti, “Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gye kiri kirungi; okomewo ombuulire.” Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu.
15
Omusajja n'amusanga ng'atambuliratambulira mu ttale, n'amubuuza nti, “Onoonya ki?”
16
Yusufu n'addamu nti, “ Nnoonya baganda bange; nkwegayiridde, mbuulira gye balundidde ekisibo.”
17
Omusajja n'ayogera nti, “Baagenda, kubanga nnabawulira nga boogera nti, ‘Tugende e Dosani.’ ” Yusufu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dosani.
18
Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne beekobaana okumutta.
19
Ne bagambagana nti, “Laba, ssekalootera wuuyo ajja.
20
Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti, Ensolo enkambwe ye yamulya; ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba.”
21
Lewubeeni bwe yawulira ekyo n'afuba okuwonya Yusufu n'agamba nti, “tuleme okumutta.”
22
Lewubeeni era n'agamba nti, “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala amuwonye, amuddize kitaawe.
23
Awo olwatuuka, Yusufu bwe yatuuka eri baganda be, ne bamwambulamu ekyambalo kye eky'amabala amangi;
24
ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga temuli mazzi.
25
Bwe baali nga balya, ne bayimusa amaaso gaabwe, ne balengera ekibiina ky'Abayisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne mooli, nga babitwala mu Misiri.
26
Yuda n'agamba baganda be nti, “Kiritugasa kitya okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe?
27
Kale tumutunde mu ba Isimaeri, ffe tuleme kumukolako kabi, kubanga muganda waffe, era musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza.
28
Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yusufu ne bamusika ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu ba Isimaeri abo, ebitundu by'effeeza abiri (20). Ne batwala Yusufu mu Misiri.
29
Lewubeeni bwe yaddayo awali obunnya, n'asanga nga Yusufu taliimu, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala.
30
N'addayo eri baganda be, n'agamba nti, “Omwana taliiyo. Kale nze n'addawa?”
31
Ne batta embuzi ennume ne bannyika ekyambalo kya Yusufu mu musaayi gwayo;
32
ne baddira ekyambalo ekyo ne bakitwalira kitaabwe; ne bamugamba nti, “Twasanga ekyambalo kino. Kaakano laba oba nga kye kyambalo ky'omwana wo, oba si ky'ekyo.”
33
Yakobo n'akitegeera, n'agamba nti, “Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo ey'omunsiko yamulya; awatali kubuusabuusa, Yusufu yataagulwataagulwa.”
34
Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we okumala ennaku nnyingi.
35
Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bajja okumugumya naye ne kitasoboka, n'abagamba nti, “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba.”
36
Abamidiyaani ne bamuguza Potifaali mu Misiri; omwami wa Falaawo, era omukulu w'abambowa.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50