bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 15
Genesis 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 16 →
1
Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti, “Totya, Ibulaamu; nze ngabo yo, era ndikuwa empeera ennene ennyo.”
2
Naye Ibulaamu n'ayogera nti, “Ai Mukama Katonda, ky'olimpa kiringasa ki nga sirina mwana? Alinsikira ye Erieza ow'e Ddamasiko?
3
Laba, nze tompadde zadde, oyo eyazaalibwa mu nnyumba yange ye alinsikira.”
4
Mukama n'amugamba nti, “Omuddu oyo taliba musika wo, naye omwana gw'olizaala ggwe wennyini, ye alikusikira.”
5
N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti, “Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, eziririko, oba nga oyinza.” N'amugamba nti, “n'ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo obungi.”
6
Ibulaamu n'akkiriza. Olw'ekyo Mukama n'amubalira obutuukirivu.
7
N'amugamba nti, “Nze Mukama eyakuggya mu Uli ekya Abakaludaaya, okukuwa ensi eno okugisikira.”
8
Ibulaamu n'ayogera nti, “Ai Mukama Katonda, n'akakasiza ku ki nga ndigisikira?”
9
Mukama n'amugamba nti, “Ndeetera wano ente enkazi ewezezza emyaka esatu, n'embuzi enkazi ewezezza emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto.”
10
Ebyo byonna n'abireeta, buli nsolo n'agitemamu wakati ebitundu bibiri, n'abitegeka nga bitunuuliganye; naye ennyonyi zo n'atazitemamu.
11
Ensega ne zijja ne zigwa ku nnyama; Ibulaamu n'azigoba.
12
Awo enjuba bwe yali ng'egwa, Ibulaamu n'akwatibwa otulo otungi, n'entiisa n'emujjira olw'enzikiza eyali ekutte.
13
Mukama n'agamba Ibulaamu nti, “Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaalyo, era liribaweereza, era liribonyaabonyezebwa okumala emyaka bina (400).
14
Eggwanga eryo ezzadde lyo lye liriweereza, ndirisalira omusango, n'oluvannyuma ezzadde lyo ndiriggyayo nga lirina ebintu bingi.
15
Naye ggwe oliba n'emirembe, era oliwangaala; bw'olifa oliziikibwa bulungi mu bantu bo.
16
Ezzadde lyo lirikomawo mu nsi eno mu mulembe ogwokuna, kubanga okwonoona kw'Abamoli kuliba kuyitiridde.”
17
Awo, enjuba bwe yamala okugwa, nga n'ekizikiza kikutte, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne birabika nga biyita wakati w'ebitundu by'ennyama y'ensolo ebyateekebwateekebwa.
18
Ku lunaku olwo Mukama n'akola endagaano ne Ibulaamu, n'amugamba nti, “Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene, Fulaati;
19
ng'otwaliddemu ensi ey'Omukeeni, ey'Omukenizi, ey'Omukadumooni,
20
ey'Omukiiti, ey'Omuperizi, ey'Abaleefa,
21
ey'Omwamoli, ey'Omukanani, ey'Omugirugaasi n'ey'Omuyebusi.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50