bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 34
Genesis 34
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 35 →
1
Awo Dina, omuwala Leeya gwe yazaalira Yakobo, n'agenda okukyalira abawala Abakanani.
2
Sekemu omwana wa Kamoli Omukiivi, omukulu w'ensi, n'amulaba, n'amutwala n'amukwata lwa mpaka, n'amusobyako
3
Omutima gwe ne gwe gatta ne Dina muwala wa Yakobo, n'amwagala nnyo, n'ayogera naye n'ekisa.
4
Sekemu n'agamba kitaawe Kamoli nti, “Mpasiza omuwala oyo.”
5
Yakobo n'awulira nga Sekemu yasobya ku Dina muwala we; naye kubanga batabani be baali n'ensolo ze mu ddundiro, n'asirika okutuusa lwe badda.
6
Kamoli kitaawe wa Sekemu n'afuluma eri Yakobo okuteesa naye.
7
Batabani ba Yakobo ne bakomawo nga bava mu ddundiro. Bwe baakiwulira, ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga Sekemu yali akoze eky'omuzizo mu Baisiraeri, bwe yasobya ku muwala wa Yakobo, ekitagwanira kukola.
8
Kamoli n'ayogera nabo nti, “Mutabani wange Sekemu ayagala kuwasa muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase.
9
Era mufumbiriganwenga naffe; mutuwenga ffe abawala bammwe, era muwasenga mmwe abawala baffe.
10
Munaabeeranga wamu naffe mu nsi yaffe, mubeerenga we mwagala, musuubulirenga muno, mwefunire ebintu.”
11
Sekemu n'agamba kitaawe wa Dina ne bannyina nti, “Singa ndabye ekisa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nnaakibawa.
12
Ebintu eby'obuko n'ebirabo bye munansalira, ne bwe binenkana wa obungi, nnaabibawa, kasita munaampa omuwala okumuwasa.”
13
Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe,
14
ne babagamba nti, “Tetuyinza kukola kino, okuwa mwannyinaffe omusajja atali mukomole; kubanga ekyo kyandibadde kya nsonyi gyetuli.
15
Tunaabakkiriza lwa kino kyokka: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga.
16
Olwo tunaabawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu.
17
Naye bwe mutaatuwulire, okukomolebwa; olwo tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda.”
18
Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli, ne mutabani we Sekemu.
19
Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo yalina ekitiibwa okusinga abalala bonna ab'omu nnyumba ya kitaawe.
20
Kamoli ne Sekemu omwana we, ne bajja mu wankaaki w'ekibuga kyabwe, ne bateesa n'abasajja ab'omu kibuga kyabwe, nga boogera nti,
21
“Abasajja abo, tebaagala kutulwanyisa. Tubaleke babeerenga mu nsi eno wamu naffe, era basuubulirengamu, kubanga ensi ngazi ekimala. Ffe tuwasenga abawala baabwe, era nabo tubawenga abawala baffe.
22
Endagaano eno yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo okutuula awamu naffe, okufuuka eggwanga erimu naffe, singa buli musajja muffe anaakomolebwanga nga bo bwe bakomolebwa.
23
Ente zaabwe n'ebintu byabwe n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? Kale tukkiriziganye nabo, batuulenga naffe.”
24
Abasajja bonna abaali mu wankaaki w'ekibuga, ne bakkiriza ebya Kamoli ne Sekemu mutabani we; buli musajja n'akomolebwa.
25
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, bwe baali nga balumwa ebiwundu, batabani ba Yakobo babiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne bakwata ebitala byabwe, ne bazinduukiriza ekibuga ne batta abasajja bonna.
26
Ne battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu, ne bavaayo.
27
Batabani ba Yakobo abalala bwe basanga nga babasse, ne banyaga eby'omu kibuga nga beesasuza olwa mwannyinaabwe gwe baagwagwawaza.
28
Baanyaga endiga, embuzi n'endogoyi zaabwe, n'ebintu byonna ebyali mu kibuga n'ebyali mu nnimiro.
29
N'obugagga bwabwe bwonna, n'abaana baabwe bonna abato n'abakazi baabwe, ne babasiba ne babanyaga, ne byonna ebyali mu nnyumba.
30
Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde omutawaana; okunkyayisa mu Bakanani ne mu Baperizi. Nnina abantu batono. Kale singa bali bonna balyekuŋŋaanya ne bannumba, balisaanyawo ennyumba yange yonna.”
31
Naye bo ne baddamu nti, “Yakola kirungi okuyisa mwannyinaffe ng'omwenzi?”
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50