bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 6
Genesis 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 7 →
1
Awo abantu bwe beeyongera obungi ku nsi, nga bazadde n'abaana ab'obuwala,
2
abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga mu bo bonna be baayagala.
3
Mukama n'ayogera nti, “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri, naye anaawangaalanga emyaka egitasukka kikumi mu abiri (120). ”
4
Mu biro ebyo, waaliwo Abanefiri mu nsi, abaazaalibwa abaana ba Katonda mu bawala b'abantu, abo be bantu ab'amaanyi era abaayatiikirira mu mirembe egy'edda.
5
Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.
6
Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n'anakuwala mu mutima gwe.
7
Mukama n'ayogera nti, “Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; nejjusizza kubanga nabikola.”
8
Naye Nuuwa n'alaba ekisa mu maaso ga Mukama.
9
Gino gy'emirembe gya Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye; Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda.
10
Nuuwa yalina abaana basatu: Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.
11
Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n'ejjula eddalu.
12
Katonda n'alaba ensi, ng'eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi.
13
Katonda n'agamba Nuuwa nti, “Maliridde okusaanyawo buli ekirina omubiri, kubanga nsi ejjudde obwonoonefu bwabyo, n'olw'ekyo nja kubizikiririza wamu n'ensi.
14
Weekolere eryato mu muti ogwa goferi; olisalemu ebisenge, olisiige envumbo munda ne kungulu.
15
Likole nga lya mikono bisatu (300) obuwanvu, emikono ataano (50) obugazi, n'emikono asatu (30) obugulumivu.
16
Likole nga lya myaliiro esatu, oteekeko eddirisa, ng'oleseeyo omukono gumu okuva waggulu waalyo, era oliteekeko omulyango mu mbiriizi zaalyo.
17
Laba, ndireeta amataba ku nsi, okuzikiriza buli ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa.
18
Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe, n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo.
19
Oliyingiza mu lyato ku buli kiramu ekirina omubiri, bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, mu ngeri yaabyo, biryoke biwonere wamu naawe.
20
Oliyingiza buli ngeri y'ebibuuka, ensolo n'ebyewalula, bibiri bibiri bireme okufa.
21
Naawe weetwalire emmere yonna eriibwa abantu, n'ey'ebitonde ebirala byonna ebirina obulamu ebiri naawe.”
22
Nuuwa n'akola byonna Katonda bye yamulagira okukola.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50