bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 2
Genesis 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 3 →
1
Bwe bityo eggulu n'ensi, n'ebirimu byonna, ne biggwa okukola.
2
Ku lu nnaku olwomusanvu Katonda n'amala emirimu gyonna gye yakola, n'awummulira ku lunaku olwomusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola.
3
Katonda n'awa omukisa olunaku olwomusanvu n'alutukuza, kubanga olwo lwe yawummulirako emirimu gye gyonna gye yakola.
4
Bino by'ebifa ku ggulu n'ensi nga bwe byatondebwa. Ku lunaku Mukama Katonda kwe yakolera ensi n'eggulu,
5
waali tewannamera muti gwonna ogw'omu nsiko wadde omuddo, kubanga Mukama Katonda yali tannaba kutonnyesa nkuba ku nsi; era nga tewali muntu alima ensi.
6
Naye amazzi gaavanga mu ttaka, ne gannyikiza ensi.
7
Mukama Katonda n'abumba omuntu n'enfuufu ey'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu, omuntu n'alyoka abeera omulamu.
8
Mukama Katonda n'asimba olusuku mu Edeni, ku luuyi olw'ebuvanjuba; n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba.
9
Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya. Wakati mu lusuku mwalimu omuti ogw'obulamu, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi.
10
Omugga ne gusibuka mu Edeni okufukiriranga amazzi mu lusuku; ne gweyawulamu ne gufuuka emigga ena.
11
Ogwolubereberye erinnya lyagwo Pisoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavira, erimu zaabu;
12
ne zaabu ey'omu nsi eyo nnungi; mulimu bedola n'amayinja aga sokamu.
13
Ogwokubiri erinnya lyagwo Gikoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kkuusi.
14
Ogwokusatu nga guyitibwa Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'ogwokuna nga guyitibwa Fulaati.
15
Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu lusuku Edeni alulimenga, alulabirirenga.
16
Mukama Katonda n'alagira omuntu n'amugamba nti, “Buli muti ogw'omu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga;
17
naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako, kubanga olunaku lw'oligulyako lw'olifa.”
18
Awo Mukama Katonda n'ayogera nti, “Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
19
Mukama Katonda n'addira ettaka n'akolamu buli nsolo ey'omu nsiko, na buli kinnyonyi ekibuuka mu bbanga; n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita; n'omuntu buli linnya lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye lyafuuka erinnya lyakyo.
20
Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira.
21
Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo.
22
Mukama Katonda n'akola omukazi mu lubiriizi lw'aggye mu muntu, n'amuleeta eri omuntu.
23
Omuntu n'ayogera nti, “Otyo! Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange; naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja.”
24
N'olwekyo, omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
25
Bombi baali bwereere, omusajja ne mukazi we, naye tebaakwatibwa nsonyi.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50