bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 38
Genesis 38
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 39 →
1
Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'agenda n'abeera n'omusajja Omwadulamu, erinnya lye Kira.
2
Yuda n'alabayo omuwala w'Omukanani, erinnya lye Suwa, n'amuwasa;
3
N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; Yuda n'amutuuma erinnya Eri.
4
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya Onani.
5
Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seera; Yuda yali mu Kezibi, bwe yazaalibwa.
6
Yuda n'awasiza Eri omwana we omubereberye omukazi, erinnya lye Tamali.
7
Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali wa mpisa mbi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta.
8
Yuda n'agamba Onani nti, “Twala nnamwandu wa muganda wo Eri omuwase, nga bwe kigwanira, oddizzeewo muganda wo ezzadde.”
9
Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yeegatta ne nnamwandu wa muganda we, amazzi agazaala n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde.
10
Ekintu ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama; n'oyo n'amutta.
11
Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti, “Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula.” Yayogera bw'atyo, kubanga yatya nti Seera naye ayinza okufa nga baganda be. Awo Tamali n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe.
12
Ekiseera nga kiyiseewo, muka Yuda, muwala wa Suuwa n'afa. Ebiseera eby'okukungubaga bwe byaggwaako, Yuda ne mukwano gwe Kira Omwadulaamu ne bambuka e Timuna, eri abasajja be abasalako endiga ebyoya.
13
Ne babuulira Tamali nti, “Laba, ssezaala wo ayambuka e Timuna okusala endiga ze ebyoya.”
14
Tamali neyeyambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe, ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa.
15
Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nti mwenzi; kubanga yali yeebisse mu maaso.
16
N'agenda gy'ali ku mabbali g'ekkubo, n'amugamba nti, “Nkwegayiridde ka nneegatte naawe.” Yayogera bw'atyo kubanga teyamanya nti ye muka mwana we. N'amuddamu nti, “Onoompa ki bw'oneegatta nange?”
17
N'ayogera nti, “Ndikuweereza omwana gw'embuzi ogw'omu kisibo.” N'ayogera nti, “Onoompa omusingo, okutuusa lw'oliguweereza?”
18
N'amubuuza nti, “Musingo ki gwe nnaakuwa?” N'amuddamu nti, “Akabonero ko n'akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” N'abimuwa, ne yeegatta naye n'aba olubuto lwe.
19
Tamali n'asituka n'agenda n'ayambulamu eky'okubikka ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obwannamwandu bwe.
20
Yuda n'atuma mukwano gwe omwadulamu okutwalira omukazi omwana gw'embuzi n'okuggyayo omusingo gwe, naye n'atamulaba.
21
N'alyoka abuuza abasajja ab'Enayimu nti, “Omukazi omwenzi abeera wano ku mabbali g'ekkubo ali ludda wa?” Ne bamuddamu nti, “Wano tewabawangawo mukazi mwenzi.”
22
N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti, “Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti, ‘Wano tewabanga mwenzi.’ ”
23
Yuda n'ayogera nti, “Gyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi, kasita nnaweerezza omwana ogw'embuzi ogwo, naye ggwe n'otomulaba.”
24
Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti, “Tamali muka mwana wo yayenda; kati ali lubuto lwa bwenzi.” Yuda n'ayogera nti, “Mumufulumye bamwokye.”
25
Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti, “Omusajja nannyini bino ye yanfunyisa olubuto.” N'ayogera nti, “Nkwegayiridde, weetegereze ebintu bino by'ani: akabonero, akajegere n'omuggo?”
26
Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti, “Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga ssaamuwa Seera omwana wange.” Yuda n'ategatta naye nate mulundi gwa kubiri.
27
Awo olwatuuka entuuko ze ez'okuzaala bwe zaatuuka, ne kitegeerekeka nti agenda kuzaala balongo.
28
Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze; omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti, “Ono ye asoose okufuluma.”
29
Awo olwatuuka bwe yazzaayo engalo ze, muganda we n'afuluma; omuzaalisa n'ayogera nti, “Bw'otyo bw'owaguzza?” Kye yava amutuuma erinnya Pereezi.
30
Oluvannyuma muganda we n'afuluma, eyalina akagoye akamyufu ku ngalo ze; n'amutuuma erinnya Zeera.
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 39 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50