bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 21
Genesis 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 22 →
1
Mukama n'atuukiriza byonna bye yasuubiza Saala.
2
Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi; Ibulayimu ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako.
3
Ibulayimu n'atuuma omwana oyo erinnya Isaaka.
4
Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka, ng'awezezza ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira.
5
Ibulayimu yali awezezza emyaka kikumi (100), omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa.
6
Saala n'ayogera nti, “Katonda ansesezza; buli anaawuliranga anaasekeranga wamu nange.”
7
N'ayogera nti, “Ani oyo eyandigambye Ibulayimu nti Saala aliyonsa abaana be? Naye laba kati, muzaalidde omwana ow'obulenzi ng'ankaddiye.”
8
Omwana n'akula, n'ava ku mabeere; Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere.
9
Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'azannya ne Isaaka.
10
Kyeyava agamba Ibulayimu nti, “Goba omuzaana ono n'omwana we kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, Isaaka.”
11
N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo eri Ibulayimu olw'omwana we Isimaeri.
12
Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Kireme okuba ekizibu gy'oli, olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo. Mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaamanyirwanga.
13
Era n'omwana w'omuzaana ndimufuula eggwanga, kubanga naye zzadde lyo.”
14
Ibulayimu n'agolokoka enkya ku makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, n'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amugamba agende. Awo Agali n'agenda, ng'abungeetera mu ddungu ery'e Beeruseba.
15
Amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n'azazika omwana wansi w'ekisaka ekimu.
16
N'agenda, walako ebbanga ng'akasaale we kagwa; n'atuula wansi ng'amutunuulira, kubanga yayogera nti, “Saagala kulaba omwana wange ng'afa.” N'atuula wansi ng'amutunuulira, n'akaaba n'eddoboozi eddene.
17
Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; era malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n'amugamba nti, “Obadde ki, Agali? Totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali.
18
Situka ositule omulenzi, omukwate mu mikono gyo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”
19
Katonda n'azibula amaaso ga Agali, n'alaba oluzzi, n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi.
20
Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale.
21
N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani; ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri.
22
Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti, “Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola;
23
kale nno, ndayirira wano mu maaso ga Katonda nga tonkuusekuusenga nze, newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange; nga nze bwe nkukoledde eby'ekisa, naawe on'onkoleranga bw'otyo nze, n'ensi gy'olimu.”
24
Ibulayimu n'ayogera nti, “Nnaalayira.”
25
Ibulayimu neyeemulugunyiza Abimereki olw'oluzzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi.
26
Abimereki n'ayogera nti, “Simumanyi eyakola bw'atyo; so naawe tombuulirangako, era siwulirangako okuggyako leero.”
27
Ibulayimu n'awa Abimereki endiga n'ente, ne balagaana endagaano bombi.
28
Ibulayimu n'ayawulako endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo n'aziteeka zokka.
29
Abimereki n'abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu z'oyawuddeko awamu zokka, amakulu gakyo ki?”
30
N'addamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu zitwale, zibeere obujulirwa obukakasa nti nze n'asima oluzzi olwo.”
31
Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba; kubanga eyo gye baalayirira bombi.
32
Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba; Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi ey'Abafirisuuti.
33
Ibulayimu n'asimba omuti omumyulira mu Beeruseba, n'asinziza eyo erinnya lya Mukama, Katonda ataggwaawo.
34
Ibulayimu n'amala ennaku nnyingi mu nsi ey'Abafirisuuti.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50