bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 16
Genesis 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 17 →
1
Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, teyamuzaalira baana. Naye yalina omuzaana Omumisiri, erinnya lye Agali;
2
Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Laba nno, Mukama nze anziyizza okuzaala; nkwegayiridde, twala omuzaana wange ono, oboolyawo alinzaalira abaana.” Ibulaamu n'akkiriza Salaayi by'amugambye.
3
Ibulaamu yali yakamala emyaka kkumi ng'atudde mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we, n'amuwa Agali, omuzaana we Omumisiri, okuba mukazi we.
4
Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n'aba olubuto. Awo Agali bwe yalaba ng'ali lubuto n'anyooma mugole we.
5
Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Mukama asalewo ani mutuufu wakati wo nange, kubanga nze nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo, naye bw'alabye ng'ali lubuto, n'annyooma, naye naawe tofuddeyo kumunenya.”
6
Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti, “Laba, Agali muzaana wo, ggw'omulinako obuyinza, mukole nga bw'oyagala.” Salaayi n'alyoka akambuwalira nnyo Agali, Agali n'amuddukako.
7
Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agali mu ddungu, awali oluzzi, mu kkubo eriraga e Ssuuli.
8
N'amugamba nti, “Agali, omuzaana wa Salaayi, ova wa, era ogenda wa?” Agali n'amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”
9
Naye malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo, omugondere.”
10
Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ndikuwa ezzadde lingi nnyo, nga terisoboka na kubalika olw'obungi.”
11
Era malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Laba, oli lubuto, olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri, kubanga Mukama awulidde okubonyaabonyezebwa kwo.
12
Era aliba ng'ensolo ey'omu nsiko etefugika. Anaalwanaga na buli muntu, era buli muntu anaalwananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.”
13
Agali n'ayita Mukama eyayogera naye erinnya nti, “Ggwe Katonda alaba.” Kubanga yeebuuza nti, “Ddala ndabye Katonda ne nsigala nga ndi mulamu?”
14
Oluzzi Olwo oluli wakati wa Kadesi ne Beredi kye lwava luyitibwa erinnya Beerirakairo.
15
Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana oyo erinnya Isimaeri
16
Ibulaamu we yazaalira Isimaeri, yali awezezza emyaka kinaana mu mukaaga (86).
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50