bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 24
Genesis 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 25 →
1
Ibulayimu yali ayitiridde obukadde, naye mukama yamuwanga omukisa mu bigambo byonna.
2
Ibulayimu n'agamba omuddu we omukulu era eyafuganga byonna bye yalina nti, “Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange;
3
nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani be ntuulamu;
4
naye ogendanga mu nsi gye nnazaalibwamu eri baganda bange, n'owasiza eyo omwana wange Isaaka omukazi.”
5
Omuddu n'amugamba nti, “Omukazi bw'atalikkiriza kujja nange mu nsi eno, olwo omwana wo gwe nditwala mu nsi gye wavaamu?”
6
Ibulayimu n'amugamba nti, “Tozzangayo mwana wange n'akatono.
7
Mukama, Katonda w'eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti, ‘Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno;’ oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo.
8
Naye omukazi bw'atalikkiriza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; Naye ky'otetantalanga kwe kuzzaayo omwana wange.”
9
Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo.
10
Omuddu n'atwala kkumi (10) ku ŋŋamira za Mukama we, n'ebintu byonna ebirungi byaggye ewa mukama we, n'agenda e Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli.
11
Bwe yatuukayo, n'afukamiza eŋŋamira ebweru w'ekibuga, awali oluzzi. Obudde bwali buwungeera nga butuuse abakazi we bafulumiranga okusena amazzi.
12
N'ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.
13
Laba, nnyimiridde ku luzzi; abaana abawala ab'omukibuga we bajja okusena amazzi;
14
kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde, ssa ensuwa yo ompe ku mazzi nnywe;’ n'agamba nti, ‘nywa, era n'eŋŋamira zo n'azisenera nezinywa;’ abeera nga ye oyo gw'olondedde omuddu wo Isaaka. Ekyo kwe naategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.”
15
Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika, mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye.
16
N'omuwala yali mulungi nnyo okulaba, omuwala omuto, so nga tewali musajja eyamumanya: n'aserengeta ku nsulo, n'ajjuza ensuwa ye, n'ayambuka.
17
Omuddu n'adduka mbiro okumusisinkana, n'amugamba nti, “nkwegayiridde, Mpa ku mazzi nywe okuva mu nsuwa yo.”
18
N'amuddamu nti, “Nywa, mukama wange;” n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe n'amunywesa.
19
Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti, “Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute.”
20
N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'adduka nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna.
21
Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nga taluwadde.
22
Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n'addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi (10) eza zaabu;
23
n'ayogera nti, “Ggwe oli mwana w'ani? Mbuulira nkwegayiridde. Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ebbanga ffe okusula omwo?”
24
N'amugamba nti, “Nze ndi mwana wa Bessweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli.”
25
Era nate n'amugamba nti, “Tulina essubi era n'eby'okulya ebinaazimala, era n'ebbanga ery'okusulamu.”
26
Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama.
27
N'ayogera nti, “Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange; nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange.”
28
Omuwala n'adduka, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri.
29
Era Lebbeeka yalina mwannyina erinnya lye Labbaani; Labbaani n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi.
30
Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwannyina, ng'ayogera nti, “Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye,” n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo.
31
N'ayogera nti, “Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? Nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira.”
32
Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'aziwa essubi n'eby'okulya byazo, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye.
33
Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti, “Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa.” N'ayogera nti, “Yogera.”
34
N'ayogera nti, “Nze ndi muddu wa Ibulayimu.
35
Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi, n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi.
36
Ne Saala mukazi wa mukama wange n'azaalira mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye; era oyo n'amuwa byonna by'alina.
37
Ne mukama wange n'andayiza, ng'ayogera nti, ‘Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe:
38
naye oligenda eri ennyumba ya kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi.’
39
Ne ŋŋamba mukama wange nti, ‘Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange.’
40
N'aŋŋamba nti, ‘Mukama, gwe ntambulira mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aliwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange;
41
bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange.’ ”
42
“Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda,’
43
laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti, ‘Ompe, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe.’
44
naye anaŋŋamba nti, ‘nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo,’ oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange.”
45
“Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n'asena: ne mmugamba nti, ‘Nnywe, nkwegayiridde.’
46
N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti, ‘Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo,’ ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira.
47
Ne mmubuuza nti, ‘Ggwe oli muwala w'ani?’ N'addamu nti, ‘Ndi muwala wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Awo ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'ebikomo ku mikono gye.
48
Ne nkutama, ne nsinza Mukama; ne nneebaza Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, eyannuŋŋamya mu kkubo ettuufu, ne ndabira mutabani we omukazi mu baana ba muganda we.
49
Kale kaakano, oba munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mmumbuulire. Oba temukkirize, era mmumbuulire, ndyoke nsalewo kye nnaakola.”
50
Labbaani ne Bessweri ne balyoka baddamu ne boogera nti, “Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama; ffe tetuyinza kubaako kyetwongerako oba okukikendeezako.
51
Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, mugende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama nga bw'ayogedde.”
52
Awo olwatuuka, omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'avuunama n'asinza Mukama.
53
Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lebbeeka; era n'awa ne mwannyina ne nnyina ebintu eby'omuwendo omungi.
54
Awo omuddu wa Ibulayimu n'abasajja be yali nabo ne balya ne banywa, ne basula wo; enkya ku makya, n'ayogera nti, “Munsiibule ŋŋende eri mukama wange.”
55
Naye mwannyina wa Lebbeeka ne nnyina ne bamuddamu nti, “Omuwala k'agira abeerako naffe ennaku ntono, gamba nga kkumi, oba okusingawo; alyoke agende.”
56
Omuddu wa Ibulayimu n'addamu nti, “Temundwisa, munsiibule ŋŋende eri mukama wange; kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.”
57
Nabo ne baddamu nti, “ Ka tuyite omuwala tumubuuze, tuwulire ky'agamba.”
58
Awo ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n'omusajja ono?” N'addamu nti, “Nnaagenda.”
59
Ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n'omulezi we, n'omuddu wa Ibulayimu, n'abasajja be yajja nabo.
60
Ne basabira Lebbeeka omukisa, nga bagamba nti, “Mwannyinaffe, beeranga nnyina w'abantu emitwalo n'enkumi, n'ezzadde lyo liwangulenga abalabe baabwe.”
61
Awo Lebbeeka n'abazaana be ne basituka, ne beebagala ku ŋŋamira, ne bagenda n'omuddu wa Ibulayimu.
62
Isaaka yali avudde e Beerirakairoi, n'atuula mu bukiikaddyo obwa Kanani.
63
Awo Isaaka bwe yali ng'atambulatambulako akawungeezi mu nnimiro, n'alengera eŋŋamira nga zijja.
64
Lebbeeka bwe yayimusa amaaso, n'alengera Isaaka, n'ava ku ŋŋamira.
65
Lebbeeka n'abuuza omuddu wa Ibulayimu nti, “ Omusajja oyo atambula mu nnimiro ng'ajja gyetuli ye ani?” Omuddu n'addamu nti, “Ye mukama wange;” awo Lebbeeka n'addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako.
66
Omuddu n'abuulira Isaaka byonna bye yakola.
67
Isaaka n'atwala Lebbeeka mu weema eyali eya Saala nnyina, okuba mukazi we. Isaaka n'amwagala; n'akubagizibwa, nnyina ng'amaze okufa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50