bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 5
Genesis 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 6 →
1
Kino kye kitabo ky'olunnyiriri lwa Adamu. Katonda bwe yatonda omuntu, yamukolera mu kifaananyi kya Katonda.
2
Ya batonda omusajja n'omukazi; n'abawa omukisa. Bwe yabatonda n'abayita omuntu.
3
Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu (130), n'azaala omwana ow'obulenzi amufaananira ddala mu byonna; n'amutuuma erinnya lye Seezi.
4
Adamu yawangaala emyaka emirala lunaana (800) ng'amaze okuzaala Seezi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala;
5
Adamu n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu asatu (930).
6
Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano (105), n'azaala Enosi.
7
Seezi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu (807) ng'amaze okuzaala Enosi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala;
8
Seezi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri (912).
9
Enosi bwe yaweza emyaka kyenda (90), n'azaala Kenani.
10
Enosi n'awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n'etaano (815) ng'amaze okuzaala Kenani. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
11
Enosi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu etaano (905).
12
Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu (70) n'azaala Makalaleri.
13
Kenani n'awangaala emyaka emirala lunaana mu ana (840). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14
Kenani n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu kkumi (910).
15
Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano (65) n'azaala Yaledi.
16
Makalaleri n'awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu (830) ng'amaze okuzaala Yaledi. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
17
Makalaleri n'afa ng'awezezza emyaka lunaana mu kyenda mu etaano (895).
18
Yaledi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri (162) n'azaala Enoka.
19
Yaledi n'awangaala emyaka emirala lunaana (800) ng'amaze okuzaala Enoka. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
20
Yaledi n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu nkaaga mu ebiri (962).
21
Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano (65), n'azaala Mesuseera.
22
Enoka bwe yamala okuzaala Mesuseera n'awangaala emyaka emirala bisatu (300), ng'atambulira wamu ne Katonda. Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
23
Enoka yawangaala emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano (365).
24
Enoka n'atambulira wamu ne Katonda, so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala.
25
Mesuseera bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu (187) n'azaala Lameka.
26
Mesuseera n'awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri (782). Yazaala n'abaana abalala ab'obulenzi n'ab'obuwala.
27
Mesuseera n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda (969).
28
Lameka bwe yaweza emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri (182), n'azaala omwana ow'obulenzi,
29
n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti, “Ono ye alituleetera okuweerako mu mirimu gyaffe, ne mu kutegana kwaffe mu nsi Mukama gye yakolimira.”
30
Lameka n'awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano (595). Yazaala n'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
31
Lameka n'afa ng'awezezza emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu (777).
32
Nuuwa nga awezeza emyaka bitaano (500), n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50