bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 19
Genesis 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 20 →
1
Bamalayika ababiri bwe batuuka e Sodoma akawungeezi; Lutti yali atudde ku mulyango awayingirirwa mu kibuga Sodoma. Lutti n'abalaba, n'asituka okubasisinkana; n'avuunama mu maaso gaabwe.
2
N'abagamba nti, “Bakama bange, mbeegayiridde mukyame, muyingire ew'omuddu wammwe, munaabe ku bigere era musule. Bwe bunaakya ku makya mulyoke mugende.” Ne baddamu nti, “Nedda, tugenda kusula ku luguudo mu kibuga.”
3
N'abeegayirira nnyo, ne bakkiriza ne bakyama ewuwe, ne bayingira mu nnyumba ye; n'abafumbira embaga, nga kuliko emigaati egitazimbulukusiddwa, ne balya.
4
Naye ng'abagenyi tebanneebaka abasajja ab'omu kibuga Sodoma, abato n'abakulu abaava mu bifo byonna, ne bazingiza ennyumba.
5
Ne bayita Lutti, ne bamubuuza nti, “Abasajja abaayingidde ewuwo ekiro kino bali ludda wa? Bafulumye obatuwe twegatte nabo.”
6
Lutti n'afuluma ebweru gyebali, n'aggalawo oluggi.
7
N'ayogera nti, “Mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkanidde wano.
8
Laba nno, nnina abaana bange abawala babiri embeerera. Ka mbafulumye gye muli, mubakole kye mwagala. Naye temubaako kye mukola ku basajja abo, kubanga bagenyi mu maka gange, nteekwa okubakuuma.”
9
Ne boogera nti, “Vvaawo, Olusajja luno olwasenga obusenzi kuno, kati lwe lutuwa ebiragiro? Kaakano ggwe tujja ku kukola bubi okusinga abo.” Awo Lutti ne bamunyigiriza nnyo, ne basembera okumenya oluggi.
10
Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne basikayo Lutti, ne bamuyingiza ne baggalawo oluggi.
11
Ne baziba amaaso g'abasajja abato n'abakulu abaali ebweru ku luggi, ne bawamanta, ne balemwa okuzuula oluggi we luli.
12
Abasajja ne babuuza Lutti nti, “Olinayo wano abantu abalala? Mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; baggye mu kifo kino.
13
Mukama atutumye okuzikiriza ekifo kino, kubanga awulidde okwemulugunya kw'abantu, olw'obubi obungi obukirimu.”
14
Lutti n'afuluma n'ayogera n'abasajja abaali bagenda okuwasa bawala be, n'abagamba nti, “Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama agenda kuzikiriza ekibuga.” Naye bo ne batafaayo nga balowooza nti asaaga busaazi.
15
Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bapapya Lutti, nga boogera nti, “situka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano; oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga.”
16
Naye Lutti bwe yeekunya; Mukama n'amusaasira, abasajja ne balyoka bakwata ku mukono gwa Lutti, ne mukazi we, ne bawala be bombi, ne babafulumya ebweru w'ekibuga.
17
Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, omu ku basajja n'abagamba nti, “Mudduke muleme okufa; temutunula mabega, era temulwa mu lusenyi lwonna; muddukire ku lusozi, muleme okuzikirizibwa.”
18
Lutti n'addamu nti, “Nedda mukama wange, nkwegayiridde;
19
omuddu wo alabye ekisa mu maaso go n'omuwonya okufa. Naye olusozi luli wala! Nnaaba sinnatuukayo, akabi ne kantuukako, ne nfa.
20
Akabuga ako akatono okalaba? Ke kali okumpi. Ndeka nzirukire omwo, nneme okufa.”
21
N'amugamba nti, “Kale nkukkirizza, sijja kuzikiriza kabuga k'oyogeddeko.
22
Naye yanguwako, oddukire omwo; kubanga sijja kukola kintu kyonna nga tonnatuukamu.” Akabuga ako ne katuumibwa erinnya Zowaali.
23
Lutti we yatuukira mu Zowaali, enjuba yali ng'evuddeyo.
24
Mukama n'alyoka atonnyesa ku Sodoma ne ku Ggomola omuliro n'obuganga nga biva mu ggulu;
25
Mukama n'alyoka azikiriza ebibuga ebyo byombi, n'olusenyi lwonna, n'abantu bonna abaabirimu, n'ebimera byonna ebyali ku ttaka.
26
Lutti yali akulembeddemu, naye mukaziwe eyali amugoberera, n'atunula emabega, n'afuuka empagi ey'omunnyo.
27
Bwe bwakya enkya Ibulayimu n'agenda mu kifo kiri mwe yasisinkanira Mukama.
28
N'atunuulira Sodoma n'e Ggomola, n'ensi yonna ey'olusenyi, n'alengera omukka nga gunyooka ng'ogw'ekikoomi nga guva ku nsi.
29
Awo Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Lutti mwe yabeeranga, Katonda n'ajjukira Ibulayimu; n'akkiriza Lutti ave mu bibuga ebyo aleme okufa.
30
Lutti yatya okubeera mu Zowaali, kyeyava ayambuka ku lusozi n'abeeranga mu mpuku ne bawala be bombi.
31
Olunaku lumu, omuwala omubereberye n'agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi eno wa kutuwasa ng'empisa y'ensi yonna bw'eri.
32
Kale, tunywese kitaffe omwenge atamiire, tulyoke twegatte naye tuzaale abaana tukuume ezzadde lye.”
33
Awo ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'eyegatta ne kitaawe; kyokka kitaabwe yali atamidde nnyo n'atakimanya.
34
Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti, “Laba, ekiro n'egasse ne kitange; era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe oyingire weegatte naye, tukuume ezzadde lya kitaffe.”
35
Era ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omuto ne yeegatta naye; era kitaabwe yali atamidde nnyo n'atakimanya.
36
Bwe batyo abaana ba Lutti bombi abawala ne baba embuto za kitaabwe.
37
Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu; oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano.
38
Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami; oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50