bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 29
Genesis 29
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 30 →
1
Yakobo n'alyoka agenda ng'atambula, n'ajja mu nsi ey'abantu ab'ebuvanjuba.
2
N'atunula, era, laba, oluzzi mu nnimiro era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi; kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo; n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene.
3
N'ebisibo byonsatule ne bikuŋŋaanira awo; ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku luzzi, ne banywesa endiga, era ne bazza ejjinja ku luzzi, mu kifo kyalyo.
4
Yakobo n'abagamba nti, “Baganda bange, muva wa?” Ne boogera nti, “Tuva Kalani.”
5
N'ababuuza nti, “Mumanyi Labbaani omwana wa Nakoli?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”
6
N'ababuuza nti, “Mulamu?” Ne bamuddamu nti, “Mulamu; era, laba, Laakeeri muwala we ajja n'endiga.”
7
N'ayogera nti, “Laba, kati ttuntu so obudde tebunnatuuka ensolo okukuŋŋaanyizibwa; munywese endiga, mugende muziriise.”
8
Ne boogera nti, “Tetuyinza, ebisibo byonsatule nga tebinnakuŋŋaanyizibwa ku luzzi, tulyoke tunywese endiga.”
9
Bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n'ajja n'endiga za kitaawe; kubanga yeyazirundanga.
10
Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n'endiga za Labbaani, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku luzzi n'anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina.
11
Yakobo n'anywegera Laakeeri n'akaaba mu ddoboozi eddene ennyo.
12
Yakobo n'abuulira Laakeeri nti ndi wa luganda ne kitaawo, ndi mwana wa Lebbeeka; Laakeeri n'adduka n'abuulira kitaawe.
13
Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina nga yazze, n'adduka najja okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna.
14
Labbaani n'amugamba nti, “Mazima ggwe oli ggumba lyange era omubiri gwange.” Yakobo n'abeera yo okumala omwezi gumu.
15
Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Olw'okuba ng'oli muganda wange ky'onoovanga ompererezanga obwereere? Mbuulira, empeera yo eneebanga ki?”
16
Era Labbaani yalina abawala babiri; erinnya ly'omukulu Leeya, n'erinnya ly'omuto Laakeeri.
17
Ne Leeya amaaso ge gaali magonvu; naye Laakeeri yali mulungi n'amaaso ge nga gasanyusa.
18
Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti, “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Laakeeri muwala wo omuto.”
19
Labbaani n'ayogera nti, “Waakiri muwa ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala.”
20
Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gimulabikira ng'ennaku entono olw'okwagala kwe yamwagala.
21
Yakobo n'agamba Labbaani nti, “Mpa omukazi wange muwase kubanga ennaku ze twalagaana ziweddeyo.”
22
Labbaani n'akuŋŋaanya abantu bonna ab'omu kifo, n'afumba embaga.
23
Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; ne yeegatta naye.
24
Labbaani n'awaayo omuzaana we Zirupa, eri muwala we Leeya okuba omuzaana we
25
Awo bwe bwakya enkya, Yakobo n'alaba nga ye Leeya; n'agamba Labbaani nti, “Kiki kino ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Laakeeri? Kale kiki ekikunnimbizza?”
26
Labbaani n'addamu nti, “Ssi mpisa yaffe mu nsi yaffe eno, okufumbiza omuto okusooka omukulu.
27
Sooka omaleko ennaku omusanvu ez'obugole ne Leeya, tulyoke tukuwe n'omulala, olw'okuweereza kw'ogenda okumpeereza nate okumala emyaka emirala musanvu.”
28
Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labbaani n'amuwa muwala we Laakeeri okuba mukazi we.
29
Labbaani n'awaayo ne Bira omuzaana we, okubeera omuzaana wa Laakeeri.
30
Yakobo ne yeegatta ne Laakeeri, era n'amwagala nnyo okusinga Leeya, n'aweereza Labbaani nate, emyaka emirala musanvu.
31
Mukama bwe yalaba nga Leeya yakyayibwa, n'asumulula olubuto lwe; naye Laakeeri yali mugumba.
32
Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Lewubeeni; kubanga yayogera nti, “Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakano baze ananjagala.”
33
N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa, era ky'avudde ampa n'omwana ono.” N'amutuuma erinnya lye Simyoni.
34
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” N'amutuuma erinnya lye Leevi.
35
N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Omulundi guno nnaamutendereza Mukama;” kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda; n'alekera awo okuzaala.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50