bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 50
Genesis 50
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 49
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
1
Yusufu n'agwa ku kitaawe n'akaaba nnyo, n'amunywegera.
2
Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe. Abasawo ne bamukalirira Isiraeri.
3
Ne bamala ennaku ana (40) nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwezaalinga. Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu (70) nga bamukungubagira.
4
Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti, “Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, muŋŋambire Falaawo nti
5
Kitange yandayiza ng'ayogera nti, ‘Bwe nfanga munziikanga mu ntaana gye nneesimira eri mu nsi ya Kanani.’ Kale kaakano nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende nziike kitange, nkomewo.”
6
Falaawo n'ayogera nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”
7
Yusufu n'agenda okuziika kitaawe; n'abaddu bonna aba Falaawo, n'abakungu ab'omu nnyumba ye n'ab'omu nsi ey'e Misiri ne bagenda naye.
8
Ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be, n'ennyumba ya kitaawe nabo ne bagenda; okuggyako abaana baabwe abato, endiga n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu kitundu ky'e Goseni.
9
Awo Yusufu n'agenda n'ab'amagaali, n'abeebagadde ku mbalaasi; ekibiina ne kiba kinene nnyo.
10
Ne batuuka ku gguuliro lye Atadi eriri emitala wa Yoludaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi nnyo. Yusufu n'amala ennaku musanvu (7) ng'akaabira kitaawe.
11
Abantu ab'omu nsi y'e Kanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguuliro lye Atadi, ne boogera nti, “Abamisiri nga bakaaba nnyo!” Ekifo ekyo kye kyava kituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
12
Abaana ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira.
13
Bwe batyo abaana be ne basitula omulambo gwa kitaabwe ne bagutwala mu nsi ya Kanani, ne baguziika mu mpuku eri mu nnimiro y'e Makupeera ebuvanjuba bwa Mamule. Ibulayimu yagula empuku awamu n'ennimiro ku Efulooni Omukiiti, okuba obutaka obw'okuziikangamu.
14
Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe, n'addayo mu Misiri wamu ne baganda be, ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe.
15
Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amaze okufa, ne boogera nti, “Mpozzi Yusufu ajja kutukyawa, yeesasuze obubi bwonna bwe twamukola.”
16
Ne batumira Yusufu nga boogera nti, “Kitaffe bwe yali nga tannafa,
17
yatugamba tukugambe nti, ‘Sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi.’ Naffe kaakano tukwegayiridde sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebigambo ebyo.
18
Awo baganda be ne bajja ne bavuunama mu maaso ge, ne bagamba nti, “Kaakano tuli baddu bo.”
19
Yusufu n'abagamba nti, “Temutya, nze ssiri mu kifo kya Katonda okubabonereza.”
20
Nammwe, mwayagala okunkolako obubi, naye Katonda n'ankolera ebirungi nga bwe kiri kaakano, asobole okuwonya abantu abangi okufa.
21
Kale kaakano temutya; nnaabalabiriranga mmwe n'abaana bammwe abato. Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo ebyo eby'ekisa.
22
Yusufu n'atuulanga mu Misiri ye n'ennyumba ya kitaawe; n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi (110).
23
Yusufu n'alaba ku baana ba Efulayimu, abazzukulu bannakasatwe; era n'aleera ku baana ba Makiri mutabani wa Manase.
24
Yusufu n'agamba baganda be nti, “Ndi kumpi kufa, naye Katonda talirema kubajjira n'abaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo.”
25
Awo Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'abagamba nti, “Katonda talirema kubajjira, era nammwe mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.”
26
Bw'atyo Yusufu n'afa, ng'awezezza emyaka kikumi mu kkumi (110). Ne bamukalirira, ne bamuteeka mu ssanduuko mu Misiri.
← Chapter 49
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50