bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 27
Genesis 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 28 →
1
Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba bulungi, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti, “Mwana wange;” n'amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
2
N'ayogera nti, “Laba nno, nze nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako.
3
Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza; ensawo yo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo;
4
era onfumbire ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa.”
5
Lebbeeka n'awulira Isaaka ng'ayogera ne Esawu omwana we. Esawu n'agenda mu nsiko okuyigga omuyiggo, n'okuguleeta.
6
Lebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti, “Laba, mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti,
7
‘Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.’
8
Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange era okole ebyo bye nkulagira.
9
Genda kaakano mu kisibo ky'embuzi, ondetereyo ebuzi ento bbiri; nange nnaazirongooseza kitaawo okuba ennyama ey'akawoowo, nga bw'ayagala;
10
naawe onoogitwalira kitaawo, alye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.”
11
Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti, “Laba, Esawu muganda wange musajja wa bwoya, so nga nze omubiri gwange muweweevu.
12
Mpozzi kitange anaampeeweetako, ne nfaanana ng'omulimba gy'ali, era nneneereetako okukolimirwa, mu kifo ky'omukisa.”
13
Nnyina n'amugamba nti, “Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange; wulira kye ŋŋamba ogende ondeetere embuzi ze nkutumye.”
14
N'agenda, n'azikima, n'azireetera nnyina; ne nnyina n'afumba ennyama ey'akawoowo nga kitaawe wa Yakobo bwe yayagala.
15
Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'abyambaza Yakobo, omwana we omuto;
16
n'ateeka amaliba g'embuzi ento ku mikono gya Yakobo ne ku nsingo awaweweevu.
17
N'awa omwana we Yakobo ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali afumbye.
18
Yakobo n'agenda eri kitaawe, n'ayogera nti, “Kitange” N'addamu nti, “Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange?”
19
Yakobo n'agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bwe wandagidde; golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, olyoke onsabire omukisa.”
20
Isaaka n'agamba omwana we nti, “Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange?” N'ayogera nti, “Kubanga Mukama Katonda wo ambedde.”
21
Isaaka n'agamba Yakobo nti, “Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala, nantiki si ye ggwe.”
22
Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti, “Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu.”
23
N'atamutegeera bulungi, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu; kale n'amusabira omukisa.
24
N'ayogera nti, “Ggwe mwana wange Esawu ddala ddala?” N'ayogera nti, “Nze nzuuno.”
25
N'ayogera nti, “Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, ndyoke nkusabire omukisa.” N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera n'omwenge n'anywa.
26
Kitaawe Isaaka n'amugamba nti, “Sembera kaakano, onnywegere, mwana wange.”
27
N'asembera, n'amunywegera; n'awulira akaloosa k'ebyambalo bye, n'amusabira omukisa, n'ayogera nti, “Laba, akaloosa ak'omwana wange Kaliŋŋaanga akaloosa ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa!
28
Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu, Ne ku bugimu obw'ensi, N'eŋŋaano nnyingi n'omwenge mungi;
29
Abantu bakuweerezenga N'amawanga gakuvuunamirenga; Ofugenga baganda bo, N'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga; Akolimirwenga buli akukolimira, Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.”
30
Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo, nga tannaviira ddala awali Isaaka kitaawe, Esawu muganda we, n'alyoka ayingira ng'avudde okuyigga.
31
Era n'afumba ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo ogw'omwana wo, olyoke omusabire omukisa”
32
Isaaka kitaawe n'amugamba nti, “Ggwe ani?” N'ayogera nti, “Nze Esawu, omwana wo, omubereberye.”
33
Isaaka n'akankana nnyo nnyini; n'ayogera nti, “Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n'agundeetera? Nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne musabira omukisa, era aguweereddwa.”
34
Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba nnyo n'eddoboozi eddene ng'anakuwadde. N'agamba kitaawe nti, “Ayi kitange, nange nsabira.”
35
N'ayogera nti, “Muganda wo azze wano n'animba, era akuggyeko omukisa gwo.”
36
N'ayogera nti, “Kyeyava atuumibwa Yakobo? Kubanga guno omulundi gwa kubiri ng'annyingirira mu byange. Laba yanzigyako eby'obukulu bwange, ate ne kaakano anzigyeko omukisa gwange!” N'agamba kitaawe nti, “Tonterekeddeyo nange mukisa?”
37
Isaaka n'addamu n'agamba Esawu nti, “Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbamuwadde okumuweerezanga; era mmujjanjabye n'eŋŋaano n'omwenge; kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange?”
38
Esawu n'agamba kitaawe nti, “Olina omukisa gumu gwokka, kitange? Nkwegayiridde, nange nsabira” Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.
39
Isaaka kitaawe n'amusabira nti, “Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi, Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu;
40
N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo; Era olulituuka bw'olyesumattula, Oryeyambula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.”
41
Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira; Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti, “Ennaku ez'okukaabira kitange ng'afudde bwe zirituuka ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo.”
42
Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti, “Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta.
43
Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange; golokoka, oddukire eri Labbaani mwannyinaze mu Kalani;
44
Obeere naye okumala ekiseera, okutuusa obusungu bwa muganda wo lwe bulikkakkana,
45
nga yeerabidde kye wamukola. Olwo ndikutumira n'olyoka okomawo. Ssaagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.”
46
Lebbeeka n'agamba Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa abakazi Abakiiti; Yakobo bw'aliwasa omukazi omukiiti, ndiba sikyasaana kuba mulamu.”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50