bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 26
Genesis 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 27 →
1
Ne wagwa enjala mu nsi, endala so si eyo eyolubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali.
2
Mukama n'amulabikira, n'ayogera nti, “Toserengeta mu Misiri; tuula mu nsi gye nnakugambako:
3
beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo;
4
era nnaayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa;
5
kubanga Ibulayimu yawuliranga eddoboozi lyange, ne yeekuumanga bye nnamukuutiranga, ebigambo byange, amateeka gange, n'ebiragiro byange.”
6
Isaaka n'atuula mu Gerali;
7
abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti, “Ye mwannyinaze,” kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange;” abasajja baayo baleme okumutta olwa Lebbeeka mukazi we, kubanga yali mulungi nnyo mu ndabika ye.
8
Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunula ng'ayima mu ddirisa, n'alaba Isaaka ng'azannyikiriza Lebbeeka, mukazi we.
9
Abimereki n'ayita Isaaka, n'ayogera nti, “Laba, mazima oyo mukazi wo; lwaki wayogera nti mwannyoko?” Isaaka n'amugamba nti, “N'ayogera bwe ntyo, kubanga nnalowooza nti nnyinza okuttibwa ku bubwe.”
10
Abimereki n'ayogera nti, “Kino kiki ky'otukoze? Omu ku basajja bange yandisuze ne mukazi wo nga tamanyi, n'otuleetera omusango.”
11
Abimereki n'akuutira abantu bonna, ng'ayogera nti, “Buli anaakwatanga ku musajja oyo oba ku mukazi we wa kuttibwa.”
12
Isaaka n'asiga mu nsi eyo, Mukama n'amuwa omukisa, n'afuna mu mwaka ogwo emirundi kikumi (100).
13
Isaaka ne yeyongera okufuna ebintu bingi, n'agaggawala nnyo.
14
Yalina embuzi, ente, n'abaddu bangi; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya.
15
Awo Abafirisuuti baali bazibye enzizi zonna abaddu ba Ibulayimu, kitaawe, ze baali basimye era nga bazijjuzizzaamu ettaka.
16
Abimereki n'agamba Isaaka nti, “Genda, tuveemu; kubanga ofuuse w'amaanyi nnyo okutusinga.”
17
Isaaka n'avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerali, n'abeera eyo.
18
Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafirisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa; n'aziyita amannya gaazo ng'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma.
19
Abaddu ba Isaaka ne basima mu kiwonvu, ne bazuula oluzzi olw'amazzi amalungi.
20
N'abasumba ab'e Gerali ne bakaayana n'abasumba ba Isaaka, nga boogera nti, “Amazzi gaffe.” Isaaka n'atuuma oluzzi olwo erinnya Eseki; kubanga baakaayana naye.
21
Ne basima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira, ne balutuuma erinnya Situna.
22
N'avaayo, n'asima oluzzi olulala; olwo ne batalukaayanira; n'alutuuma erinnya Lekobosi; n'ayogera nti, “Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi eno.”
23
N'avaayo n'ayambuka e Beeruseba.
24
Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo; totya, kubanga nze ndi wamu naawe era nnaakuwanga omukisa, era nnaayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu.”
25
N'azimba eyo ekyoto, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye; n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi.
26
Abimereki n'alyoka ava mu Gerali ng'ali wamu ne Akuzaki mukwano gwe, ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne bagenda eri Isaaka.
27
Isaaka n'abagamba nti, “Kiki ekibaleese gye ndi ng'ate mwankyawa, ne mungoba mu nsi yammwe.”
28
Ne boogera nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali wamu naawe, kye tuva tugamba nti wabeewo obweyamo wakati wo naffe, era tukole endagaano naawe nti,
29
ggwe tootukolengako kabi, nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera eby'ekisa, ne tukuleka n'ogenda mirembe. Kaakano Mukama ggwe gw'awadde omukisa.”
30
N'abafumbira embaga, ne balya ne banywa.
31
Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bakola endagaano; Isaaka n'abasiibula, ne baawukana mirembe.
32
Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba nti, “ Tuzudde amazzi.”
33
N'alutuuma Siba; n'erinnya ly'ekibuga ekyo kyeriva liyitibwa Beeruseba n'okutuusa leero.
34
Esawu bwe yali nga ng'awezezza emyaka ana (40) n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti:
35
Bakazi ba Esawu bano ne banakuwaza Isaaka ne Lebbeeka.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50