bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 17
Genesis 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 18 →
1
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda (99) Mukama n'amulabikira n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu biragiro byange obeerenga mutuukirivu.
2
Ndikola naawe endagaano, era ndikuwa ezzadde lingi.”
3
Ibulaamu ne yeeyala wansi ku ttaka, n'asinza Katonda. Katonda n'amugamba nti,
4
“Laba, nkoze endagaano naawe. Oliba jjajja w'amawanga amangi.
5
Erinnya lyo terikyali Ibulaamu nate, naye erinnya lyo linayitibwanga Ibulayimu; kubanga nkufudde jjajja w'amawanga amangi.
6
Ndikuwa ezzadde lingi, era olivaamu amawanga ne bakabaka.
7
Naanywezanga endagaano gye nkoze naawe, era n'ezzadde lyo eririddawo, okuba endagaano eteridiba emirembe gyonna. N'abanga Katonda wo, era Katonda w'ezzadde lyo.
8
Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo, ensi eno mw'oli. Ensi yonna eya Kanani eriba ya zzadde lyo emirembe gyonna, era nze nnaabanga Katonda waabwe.”
9
Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Ggwe n'ezzadde lyo munaakwatanga endagaano yange emirembe gyonna.
10
Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, wakati wange naawe, n'ezzadde lyo: buli musajja mu mmwe anaakomolwanga.
11
Era munaakomolwanga ekikuta ky'omubiri gwammwe; ako kanaabanga akabonero ak'endagaano wakati wammwe nange.
12
Buli mwana omulenzi anaazaalibwanga mu maka gammwe anaakomolwanga ng'awezezza ennaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abaazaalirwa mu nnyumba zammwe n'abo abagulibwa obugulibwa n'ebintu okuva mu bannamawanga.
13
Buli anaazaalirwanga mu maka gammwe, na buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe.
14
Buli musajja atakomoleddwa, taabalirwenga mu bantu bange, kubanga ab'amenye endagaano yange.”
15
Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Mukazi wo tokyamuyitanga Salaayi, naye erinnya lye linaabanga Saala.
16
Nange ndimuwa omukisa, era alikuzaalira omwana ow'obulenzi. Ddala ndimuwa omukisa, era aliba nnyina w'amawanga; ne mu zzadde lye mulivaamu bakabaka.”
17
Ibulayimu n'alyoka yeeyala ku ttaka nga yeevuunise, n'aseka n'ayogera mu mutima gwe nti, “Oyo awezezza emyaka ekikumi (100) alizaalirwa omwana? Ne Saala awezezza emyaka ekyenda (90) alizaala?”
18
Ibulayimu n'agamba Katonda nti, “Waakiri nno Isimaeri abe mulamu, ansikire!”
19
Katonda n'ayogera nti, “Nedda, Saala mukazi wo alikuzaalira omwana ow'obulenzi, naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka. Naanywezanga endagaano yange naye, n'ezzadde lye emirembe gyonna, okuba endagaano eteriggwaawo.
20
Ne by'osabidde Isimaeri mbiwulidde. Naye ndimuwa omukisa, era ndimuwa ezzadde lingi nnyo, ndimufuula eggwanga eddene, era alivaamu abalangira kkumi na babiri.
21
Naye endagaano yange n'aginywezanga na Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu kiseera ekyateekebwawo, omwaka ogujja.”
22
Katonda bwe yamala okwogera ne Ibulayimu, n'ava awali Ibulayimu n'agenda.
23
Ku lunaku olwo lwennyini, Ibulayimu n'akomola mutabani we Isimaeri, n'abaddu bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne be yagula, era n'abasajja bonna ab'omu maka ge, nga Katonda bwe yamugamba.
24
Ibulayimu yali awezezza emyaka kyenda mu mwenda (99) we yakomolerwa;
25
ate mutabani we Isimaeri yali awezezza emyaka kkumi n'esatu (13).
26
Ibulayimu ne mutabani we Isimaeri, baakomolebwa ku lunaku lwe lumu,
27
wamu n'abasajja bonna ab'omu maka ge, abaazaalirwamu ne be yagula ku bannamawanga.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50