bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 47
Genesis 47
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 46
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 48 →
1
Yusufu n'alyoka ayingira n'agamba Falaawo nti, “Kitange ne baganda bange, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse nga bava mu nsi ya Kanani, era kati bali Goseni.”
2
N'alonda ku baganda be abasajja bataano, n'abaleetera eri Falaawo.
3
Falaawo n'ababuuza nti, “Mukola mulimu ki?” Ne baddamu Falaawo nti, “Abaddu bo tuli basumba nga bajjajjaffe bwe baali.”
4
Ne bagamba Falaawo nti, “Tuzze okutuula mu nsi eno; kubanga enjala nnyingi mu nsi ya Kanani, so tewali muddo gwa kuliisa bisibo byaffe. Kale kaakano tukwegayiridde kiriza abaddu bo batuule e Goseni.”
5
Falaawo n'agamba Yusufu nti, “ Kitaawo ne baganda bo bazze gy'oli;
6
ensi y'e Misiri eri mu maaso go; kale laba awasinga obulungi, e Goseni w'oba obatuuza; era oba omanyi ku bo ab'amagezi, bafuule abalunzi b'ente zange.”
7
Awo Yusufu n'ayingiza Yakobo kitaawe, n'amwanjula eri Falaawo; Yakobo n'asabira Falaawo omukisa.
8
Falaawo n'abuuza Yakobo nti, “Olina emyaka emeka?”
9
Yakobo n'amuddamu nti, “Nnina emyaka kikumi mu asatu (130). Emyaka egyo gibadde mitono, era mibi, tegyenkana gya bajjajjange gye baawangaalanga.”
10
Yakobo era n'asabira Falaawo omukisa, n'alyoka avaayo.
11
Yusufu n'asenza kitaawe ne baganda be, n'abawa obutaka mu nsi ye Misiri, awasinga obulungi, e Lameseesi, nga Falaawo bwe yalagira.
12
Yusufu n'aliisa kitaawe ne baganda be n'ab'ennyumba zaabwe zonna emmere.
13
Enjala n'eba nnyingi nnyo mu nsi ye Misiri ne mu nsi ya Kanani, abantu n'okuzirika ne bazirika olw'enjala.
14
Yusufu n'aguza eŋŋaano abantu bonna ab'omu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, n'akuŋŋaanya effeeza nnyingi, n'agiteeka mu ggwanika lya Falaawo.
15
Effeeza yonna bwe yaggwaawo mu nsi y'e Misiri ne ya Kanani, Abamisiri bonna ne bagenda eri Yusufu, ne bamugamba nti, “Tuwe emmere tuleme kufa kubanga ffeeza etuweddeko.”
16
Yusufu n'abaddamu nti, “Oba ng'effeeza ebaweddeko, muleete ensolo zammwe mbaweemu emmere.”
17
Ne baleetera Yusufu ensolo zaabwe: embalaasi, endiga, ente n'endogoyi, n'abawamu emmere; n'abaliisa bwatyo okumala omwaka mulamba.
18
Omwaka ogwaddirira, ne bajja nate eri Yusufu ne bamugamba nti, “Tetujja kukukisa mukama waffe, effeeza yaffe yonna yaggwaawo, n'ebisibo byaffe byonna biweddewo, tewali kye tusigazza, okuggyako ffe ffennyini n'ettaka lyaffe.
19
Totuleka kufa, n'ensi yaffe okuzikirira ng'olaba. Tugule, ffe n'ebibanja byaffe, otuweemu emmere. Tunaabanga baddu ba Falaawo, era n'ettaka lyaffe linaabanga lirye. Tuwe eŋŋaano ey'okulya n'ey'okusiga, tuleme kufa, era tulime, ensi yaffe ereme okuzika.”
20
Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonna ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muntu ettaka lye, olw'enjala okuyitirira; ensi yonna n'efuuka ya Falaawo.
21
Yusufu n'asengula abantu, n'abassa mu bibuga, n'abafuula abaddu, okuva ku nsalo ya Misiri emu, okutuuka ku ndala.
22
Ettaka lya bakabona lyokka ly'ataagula kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga ku mugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kye baava balema okutunda ettaka lyabwe.
23
Yusufu n'agamba abantu nti, “Ngulidde Falaawo ettaka lyammwe, nammwe ne mbaguliramu. Kale ensigo ziizo, ze munaasiga mu nnimiro zammwe.
24
Bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu ekyokutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, eby'okusiga mu nnimiro n'okulya, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe.”
25
Ne boogera nti, “Otuwonyezza okufa; kati tuli baddu ba Falaawo.”
26
Yusufu n'ateeka etteeka eryo mu nsi y'e Misiri erikyaliwo ne leero; Falaawo okuweebwanga ekitundu ekyokutaano, naye ettaka lya bakabona lyokka lyeritaafuuka lya Falaawo.
27
Isiraeri n'abaana be ne batuula mu nsi ey'e Goseni, ne bagaggawala, ne bazaala abaana ne baala.
28
Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu (17) ng'asenze mu nsi ey'e Misiri; emyaka gyonna Yakobo gye yawaangala gyali kikumi mu ana mu musanvu (147).
29
Awo Isiraeri bwe yali ng'anaatera okufa n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti, “Nkwegayiridde kkiriza kaakano, oteeke ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange ondayirire nti tolinziika mu Misiri.
30
Bwe mba nga nfudde onzigyanga mu Misiri n'onziika ku butaka bwa bajjajjange.” Yusufu n'addamu nti, “Ndikola nga bw'oyogedde.”
31
Yakobo n'amugamba nti, “Ndayirira.” N'amulayirira. Isiraeri n'avuunama emitwetwe n'asinza.
← Chapter 46
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 48 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50