bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 44
Genesis 44
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 45 →
1
Yusufu n'alagira omuwanika w'ennyumba ye nti, “Jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye.
2
Era teeka ekikompe kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, wamu n'effeeza ye.” Omuwanika n'akola nga Yusufu bw'amugambye.
3
Awo bwe bwakya enkya, abasajja ne basiibulwa, nga bali n'endogoyi zaabwe.
4
Bwe baali bakava mu kibuga naye nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti, “Situka ogoberere abasajja abo; bw'onoobatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki obulungi mu busasuddemu obubi?
5
Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anyweramu, era ky'alaguza? Mukoze bubi nnyo.’ ”
6
N'abatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo.
7
Ne bamugamba nti, “Kiki eky'ogezezza mukama waffe ebigambo ebiriŋŋaanga ebyo? Kitalo, ffe abaddu bo okukola ekigambo ekyenkanidde awo.
8
Laba, effeeza gye twasanga mu bumwa bw'ensawo zaffe, twagizza gy'oli, okuva mu nsi ya Kanani; kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo?
9
Buli anaasangibwa ku baddu bo ng'ali nakyo, attibwe era naffe abasigaddewo tunaaba baddu bo.”
10
N'ayogera nti, “Kale nno kaakano kibe nga bwe mugambye. Anaasangibwa ng'ali nakyo ye anaaba omuddu wange; nammwe abalala temubeeko musango.”
11
Awo ne banguwa, ne beetikkula buli muntu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye.
12
Omuwanika wa Yusufu, n'ayaza, ng'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto; ekikompe ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini.
13
Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, buli muntu n'ateeka ebintu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
14
Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu, ne bamusanga ng'akyaliyo; ne bavuunama mu maaso ge.
15
Yusufu n'abagamba nti, “Kikolwa ki kino kye mukoze? Temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala?”
16
Yuda n'ayogera nti, “Tunaagamba tutya mukama wange? Tunaayogera tutya? Oba tunaawoza tutya? Katonda alabye obutali butuukirivu bw'abaddu bo; Kati tuli baddu ffe awamu n'oyo asangiddwa n'ekikompe.”
17
Yusufu n'agamba nti, “Nedda, siyinza kukola bwe ntyo. Oyo yekka asangiddwa n'ekikompe ye anaaba omuddu wange. Naye mmwe abalala muddeyo mirembe eri kitammwe.”
18
Awo Yuda n'alyoka asemberera Yusufu n'ayogera nti, “Ayi mukama wange nkwegayiridde, nzikiriza nze omuddu wo njogereko naawe, tonsunguwalira, kubanga olinga Falaawo ddala.
19
Mukama wange yabuuza abaddu be ng'ayogera nti, ‘Mulina kitammwe, oba muganda wammwe?’
20
Naffe ne tugamba mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana bannyina, era kitaawe amwagala.’
21
Naawe n'ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmukubeko amaaso.’
22
Ne tugamba mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuleka kitaawe; kubanga bw'alimuleka, kitaawe alifa.’
23
Abaddu bo n'obagamba nti, ‘Muto wammwe bw'atalijja nammwe, temuliddayo kulaba ku maaso gange nate.’
24
Awo bwe twatuuka eri kitaffe ne tumubuulira ebigambo byonna bye wayogera.
25
Kitaffe n'ayogera nti, ‘Muddeyo nate, mutugulire akamere.’
26
Naffe ne twogera nti, ‘Tetuyinza kuddayo, muto waffe bw'atagende naffe, kubanga tetugenda kuddayo kulaba ku maaso ga musajja, wabula nga muto waffe ali wamu naffe.’
27
Omuddu wo kitange n'atugamba nti, ‘Mumanyi nti mukazi wange yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri;
28
omu n'anvaako, kye nnava njogera nti Mazima yataagulwataagulwa ensolo enkambwe, era siddangayo ku mulabako,
29
era bwe munanzigyako n'ono, akabi ne kamutuukako, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde!’
30
Kale kaakano bwe ndiddayo eri omuddu wo kitaffe ng'omulenzi oyo omuganzi tali wamu naffe,
31
olwo abaddu bo ffe tuliba tuleetedde kitaffe okufa olw'okunakuwala.
32
Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitaffe nga njogera nti, ‘Bwe sirimukomyawo gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitaffe ennaku zonna.’
33
Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be.
34
Kubanga ndituuka ntya eri kitange, ng'omulenzi tali wamu nange? Siyinza kugumira kabi akalituuka ku kitange.”
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 45 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50