bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 30
Genesis 30
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 31 →
1
Laakeeri bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, Laakeeri n'akwatirwa obuggya muganda we; n'agamba Yakobo nti, “Mpa abaana, oba si ekyo n'afa.”
2
Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n'agamba nti, “Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma okuzaala abaana?”
3
N'ayogera nti, “Twala omuzaana wange Bira, weegatte naye alyoke azaalire ku maviivi gange, nange nfune abaana mu ye.”
4
N'amuwa Bira omuzaana we okumuwasa; Yakobo ne yeegatta naye.
5
Bira n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi.
6
Laakeeri n'ayogera nti, “Katonda asaze omusango, era awulidde eddoboozi lyange, ky'avudde ampa omwana ow'obulenzi.” N'amutuuma erinnya lye Ddaani.
7
Bira omuzaana wa Laakeeri n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri.
8
Laakeeri n'ayogera nti, “Mmegganye ne muganda wange okumeggana okw'amaanyi, era mmezze.” N'amutuuma erinnya lye Nafutaali.
9
Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zirupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo okumuwasa.
10
Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi.
11
Leeya n'ayogera nti, “Mbadde wa mukisa!” N'amutuuma erinnya lye Gaadi.
12
Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri.
13
Leeya n'ayogera nti, “Nsanyuse, kubanga abakazi banaampitanga musanyufu.” N'amutuuma erinnya lye Aseri.
14
Mu biseera by'amakungula g'eŋŋaano Lewubeeni n'agenda mu nnimiro n'alabayo amadudayimu, n'agaleetera nnyina Leeya. Awo Laakeeri n'agamba nti, “Nkwegayiridde mpa ku madudayimu ag'omwana wo.”
15
N'amuddamu n'ekkabyo nti, “Okiyita kitono okunzigyako baze? Era oyagala n'okunzigyako n'amadudayimu g'omwana wange?” Laakeeri n'amugamba nti, “Bw'onompa amadudayimu g'omwana wo, Yakobo anaasula naawe ekiro kino.”
16
Yakobo bwe yava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'agamba nti, “Ojja kusula nange ekiro kino, kubanga mpaddeyo amadudayimu g'omwana wange okukugula.” Yakobo n'asula naye ekiro ekyo.
17
Katonda n'awulira Leeya, n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okutaano.
18
Leeya n'ayogera nti, “Katonda ampadde empeera yange, kubanga nnawa baze omuzaana wange.” N'amutuuma erinnya lye Isakaali.
19
Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga.
20
Leeya n'ayogera nti, “Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi; kaakano baze ananzisaamu ekitiibwa kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga.” N'amutuuma erinnya lye Zebbulooni.
21
Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma erinnya Dina.
22
Katonda n'ajjukira Laakeeri, Katonda n'amuwulira, n'aggula olubuto lwe.
23
Laakeeri N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Katonda anzigyeko okuvumibwa kwange.”
24
N'amutuuma erinnya lye Yusufu, ng'ayogera nti, “Mukama annyongeddeko omwana omulala ow'obulenzi.”
25
Awo olwatuuka, Laakeeri bwe yamala okuzaala Yusufu, Yakobo n'agamba Labbaani nti, “Nsiibula nzireyo ewaffe, era mu nsi y'ewaffe.
26
Mpa bakazi bange n'abaana bange be nnakuweererezanga, ndyoke ŋŋende: kubanga omanyi bwe nkuweerezza obulungi.”
27
Labbaani n'amugamba nti, “Kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, beera wano; kubanga nzudde nga Mukama yampa omukisa ku bubwo.
28
Nnamulira empeera gye nnaakuwanga.”
29
Yakobo n'amugamba nti, “Omanyi bwe nnakuweerezanga, nga ndabirira ebisibo byo, era ebisibo byo bwe byali nange.
30
Kubanga bye walina byali bitono nga sinnajja, naye kaakano byeyongedde okuba ebingi era Mukama yakuwa omukisa buli gye nnagendanga yonna. Naye kaakano nze ndifuna ddi eby'omunnyumba yange?”
31
Labbaani n'amubuuza nti, “Nnaakuwa ki?” Yakobo n'amugamba nti, “Tolina ky'onompa. Nja kwongera okulabirira ebisibo byo singa onoonkolera kino:
32
Leka mpite mu kisibo kyo kyonna leero, ŋŋende nga nzijamu buli mbuzi n'endiga enkulu, eza bujagijagi n'ez'ebitanga, na buli ndiga nto enzirugavu okuba empeera yange.
33
Oluvannyuma olimanya oba nga mbadde wa mazima. Bw'olijja okukebera empeera yange, buli mbuzi eteri ya bitanga oba ya bujagijagi, n'endiga eteri nzirugavu bw'erisangibwa nange, eyo eribalibwa nga nzibe.”
34
Labbaani n'ayogera nti, “Kale kibeere ng'ekigambo kyo bwe kiri.”
35
Ku lunaku olwo Labbani n'aggyamu embuzi ennume eza biwuuga, n'eza bitanga, n'embuzi enkazi zonna eza bujagijagi n'eza bitanga, n'ezo zonna ezaalina ebbala eryeru, era n'endiga zonna enzirugavu, n'azikwasa batabani be okuzirabirira.
36
N'assaawo ebbanga wakati we ne Yakobo lya lugendo lwa nnaku ssatu okwawula ezize n'eza Yakobo. Yakobo n'alunda ebisibo bya Labbaani ebyasigalawo.
37
Yakobo n'addira obuti bw'omulibine omubisi, n'obw'omusakedi n'obw'omwalamoni; n'abusasambulako ebikuta ebimu, ne bukola enguudo enjeru.
38
Obuti obwo bw'asusumbudde, n'abusimba mu maaso g'ebisibo mu byesero, ebisibo we byajjanga okunywera, kubanga endiga n'embuzi zawakanga nga zizze okunywa.
39
Ebisibo ne biwakira mu maaso g'obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga, n'eza bujagijagi n'eza bitanga.
40
Yakobo n'ayawula endiga enkazi n'azitunuza mu kisibo kya Labbaani nga zitunulidde eza biwunga, n'enzirugavu ez'omu kisibo kya Labbani.
41
Awo olwatuuka ezaalina amaanyi mu kisibo bwe zabaanga ziwaka, Yakobo n'ateeka obuti mu byesero mu maaso g'ekisibo ziwakire we buli;
42
naye bwe zaabanga ennafu teyabuteekangawo. Bwe zityo ennafu ze zaabanga eza Labbaani, n'ez'amaanyi ne ziba eza Yakobo.
43
Yakobo, n'afuuka mugagga nnyo, n'aba n'ebisibo binene, n'abazaana n'abaddu, n'eŋŋamira n'endogoyi.
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50