bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Genesis 39
Genesis 39
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 40 →
1
Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifaali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula ku ba Isimaeri, abaamuserengesaayo.
2
Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri.
3
Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa omukisa mu buli kye yakolanga.
4
Potifaali n'asiima Yusufu, n'amufuula omuweereza we ow'enjawulo, n'amuwa okulabiriranga ennyumba ye, n'okukuumanga ebibye byonna.
5
Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa omukisa ennyumba ey'Omumisiri ku bwa Yusufu; omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro.
6
Potifaali n'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya bintu bye byonna, okuggyako emmere gye yalyanga. Yusufu yali mulungi nnyo mu ndabika, n'amaaso ge nga gasanyusa.
7
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n'atunuulira Yusufu; n'ayogera nti, “Weebake nange.”
8
Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange;
9
tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze, wabula ggwe, kubanga oli mukazi we; kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?”
10
Newakubadde ng'omukazi oyo yeetayiriranga Yusufu buli lunaku, naye Yusufu n'agaana okusula naye wadde okubeera naye.
11
Awo olwatuuka mu biro ebyo, Yusufu n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; nga tewali basajja balala mu nnyumba.
12
Omukazi n'akwata Yusufu ekyambalo n'amugamba nti, “Weebake nange.” Yusufu n'aleka ekyambalo kye mu ngalo z'omukazi n'adduka n'afuluma ebweru.
13
Awo olwatuuka, omukazi bwe yalaba Yusufu ng'alese ekyambalo kye mu ngalo ze, naye n'adduka n'afuluma ebweru.
14
Omukazi n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti, “Mulabe, baze yaleeta muno Omwebbulaniya okutujooga; ayingidde gye ndi okunsobyako, ne ndeekaana nnyo.
15
Awo olutuuse, bw'awulidde nga ndeekaana nnyo n'aleka ekyambalo kye mu ngalo zange n'adduka n'afuluma ebweru.”
16
Omukazi n'atereka ekyambalo kya Yusufu okutuusa mukama we lwe yakomawo eka.
17
N'amubuulira ebigambo bye bimu nti, “Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera, yayingira gye ndi n'agezaako okunsobyako.
18
Awo olwatuuka, bwe nnaleekaana ennyo n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'afuluma ebweru.”
19
Mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba Yusufu bye yakola; obusungu bwe ne bubuubuuka.
20
Potifaali n'atwala Yusufu mu kkomera, ekifo abasibe ba Kabaka mwe basibirwa n'abeera omwo.
21
Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'amukwatirwa ekisa, n'amuwa okusiimibwa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera.
22
Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yusufu abasibe bonna okubalabiriranga, era n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kintu ekikolebwa mu kkomera.
23
Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwa Yusufu, kubanga Mukama yali wamu ne Yusufu, n'ebyo bye yakola Mukama n'abiwa omukisa.
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 40 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50